Abajulirwa ba Yakuwa Baggya wa Ssente ze Bakozesa mu Mulimu Gwabwe ogw’Okubuulira?
Okusingira ddala, ssente Abajulirwa ba Yakuwa ze bawaayo kyeyagalire ze ziyimirizaawo omulimu gwaffe ogw’okubuulira. a Mu nkuŋŋaana zaffe wabaawo obusanduuko omuntu mw’asobola okuteeka ssente bw’aba ayagadde okuwaayo, era waliwo n’engeri endala ez’okuwaayo eziragibwa ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Waliwo engeri ezitali zimu ez’okuwaayo omuntu mw’asobola okuyitira okuwaayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, okuwagira ensaasaanya y’ekibiina kye, oba okuwagira byombi.
Abajulirwa ba Yakuwa tebawaayo kimu kya kkumi era tebalina mutemwa gwa ssente gwe basalira bantu kuwaayo buli mwezi okusinziira ku nfuna yaabwe. (2 Abakkolinso 9:7) Okuyingira mu nkuŋŋaana zaffe kuba kwa bwereere era tebaayo kusolooza ssente. Abo abatwala obukulembeze tebasasuza bantu ssente za kubatizibwa, kuziika, okugatta abagole, oba ebintu ebirala ebikwata ku by’eddiini. Ate era tetutunda bintu mu nkuŋŋaana zaffe oba ku mikolo tusobole okusonda ssente, era tetugamba bantu kuwaayo ssente. Omuntu aba awaddeyo ssente tetumulanga mu kibiina, era n’omuwendo gwa ssente z’aba awaddeyo nagwo tegumanyibwa. (Matayo 6:2-4) Ate era ebitabo byaffe n’omukutu gwaffe ogwa Intaneeti tekubaako bulango bwa kuwaayo ssente.
Buli mwezi, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna bisoma embalirira eraga engeri ssente eziba ziweereddwayo gye zikozeseddwamu, era enkuŋŋaana ezo buli omu asobola okuzibaamu. Buli luvannyuma lwa kiseera, buli kibiina kibaamu okubala ebitabo okukakasa nti ssente eziba zaaweebwayo zaakwatibwa bulungi.—2 Abakkolinso 8:20, 21.
Engeri gy’Oyinza Okuwaayo
Okuteeka ssente mu kasanduuko: Osobola okuteeka ssente enkalu oba ceeke mu kasanduuko akaba mu Kingdom Hall, mu Kizimbe Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene, oba mu kifo ekirala kyonna awaba enkuŋŋaana zaffe.
Okuwaayo ng’oyitira ku Intaneeti: Mu nsi nnyingi, osobola okukozesa emu ku nkola eziri mu kitundu “Donate to Jehovah’s Witnesses” ekiri ku mukutu gwaffe, n’owaayo ng’okozesa kaadi ya banka eya credit cards, debit cards, bank transfers, oba enkola endala. b Abajulirwa ba Yakuwa abamu basalawo ‘okubaako kye baterekawo’ buli mwezi, ne basobola okuwaayo buli mwezi nga bakozesa emu ku nkola ezo waggulu.—1 Abakkolinso 16:2.
Okukola entegeka nga bukyali: Enkola ezimu ez’okuwaayo zeetaagisa okukola entegeka nga bukyali oba n’okubaako amagezi g’oweebwa mu by’amateeka. Okukola entegeka ng’eyo kiyinza n’okukusobozesa okumanya misolo gya ngeri ki gye bayinza okukukendeerezaako mu nsi yo. Abantu bangi baganyuddwa mu kweyongera okumanya ebikwata ku ebyo bye basobola okuwaayo nga bakyali balamu oba ebisobola okuweebwayo ku lwabwe nga bafudde. Bwe kiba nti kye wandyagadde okuwaayo kizingiramu bino wammanga, osabibwa okwebuuza ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa ey’omu nsi yo osobole okumanya ebisingawo:
akawunta za bbanka
yinsuwa ne pensoni
ettaka n’ebizimbe
emigabo
ebiraamo n’ebintu ebisigire
Okusobola okumanya enkola endala ez’okuwaayo ezikozesebwa mu kitundu kyo, laba ekitundu “Donate to Jehovah’s Witnesses.”
a Abantu abamu abatali Bajulirwa ba Yakuwa nabo bawaayo okuwagira omulimu gwaffe ogw’okubuulira.
b Okumanya ebisingawo, laba vidiyo Engeri y’Okuwaayo nga Tukozesa Omukutu Gwaffe.