ABAVUBUKA BABUUZA
Okwogereza—Ekitundu 1: Ntuuse Okwogereza oba Okwogerezebwa?
Ebiri mu kitundu kino
Okwogereza kye ki?
Abantu abamu okwogereza bakutwala ng’ekintu ekibanyumira obunyumizi okukola. Kyokka mu kitundu kino, “okwogereza” kutegeeza ekiseera omusajja n’omukazi kye bamala nga buli omu agezaako okumanya munne, okulaba obanga banaafumbiriganwa. N’olwekyo, okwogereza kubaako ekigendererwa. Tekiba kiseera kya kubeera awo ng’onyumirwa okufiibwako omuntu gw’otafaanaganya naye kikula.
Oluvannyuma lw’ekiseera, okwogereza kusaanidde okuyamba omusajja n’omukazi okusalawo obanga banaafumbiriganwa oba nedda. Bw’otandika okwogerezeganya n’omuntu, osaanidde okwetegekera ekimu ku bintu ebyo.
Ky’olina okumanya: Bw’okiraba nti otuuse okwogereza oba okwogerezebwa, osaanidde okuba omwetegefu okuyingira obufumbo.
Otuuse okwogereza oba okwogerezebwa?
Bw’oyogerezeganya n’omuntu musobola okufumbiriganwa, n’olwekyo kirungi okulowooza ku ngeri z’olina ezinaabayamba mu bufumbo oba ezinaabwonoona. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bintu bino wammanga:
Enkolagana awaka. Engeri gy’oyisaamu bazadde bo ne baganda bo, naddala nga waliwo ebikutawaanya, eraga engeri gy’onooyisaamu munno mu bufumbo.
Omusingi gwa Bayibuli: “Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu na buli kikolwa kyonna ekibi.”—Abeefeso 4:31.
Weebuuze: ‘Bazadde bange ne baganda bange bakiraba nti mbassaamu ekitiibwa? Bwe nfuna obutakkaanya n’omu ku bo, ensonga ngyogerako mu bukkakkamu, oba nnyiiga era ne nkaayana?’
Okwefiiriza. Bw’onooyingira obufumbo kijja kukwetaagisa okulowoozanga ku ebyo munno by’ayagala era n’obangako bye weefiiriza ku lulwe.
Omusingi gwa Bayibuli: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, wabula anoonye ebigasa abalala.”—1 Abakkolinso 10:24.
Weebuuze: ‘Buli kiseera njagala ebintu bikolebwe nga nze bwe njagala? Abalala bakiraba nti siri mukakanyavu? Mu ngeri ki gye nkiraze nti nkulembeza eby’abalala mu kifo ky’ebyange?’
Obwetoowaze. Omwami oba omukyala omulungi akkiriza ensobi ye era ne yeetonda mu bwesimbu.
Omusingi gwa Bayibuli: “Emirundi mingi ffenna tusobya.”—Yakobo 3:2.
Weebuuze: ‘Nnyanguwa okukkiriza ensobi yange, oba ntera okwekwasa obusongasonga? Nnyiiga nga bampabudde?’
Ssente. Ssente kye kimu ku bintu ebikyasinze okutabula abafumbo. N’olwekyo bw’oba okozesa bulungi ssente, ekyo tekijja kubatabula.
Omusingi gwa Bayibuli: “Ani ku mmwe ayagala okuzimba omunaala atasooka kutuula wansi n’abalirira ebyetaagisa okulaba obanga alina ebimala okugumaliriza?”—Lukka 14:28.
Weebuuze: ‘Nsobola okukendeeza ku ngeri gye nsaasaanyaamu ssente, oba buli kiseera mba mu mabanja? Nkiraze ntya nti nkozesa bulungi ssente?’
Enteekateeka y’eby’omwoyo. Bw’oba oli Mujulirwa wa Yakuwa, olina okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Bayibuli n’okubangawo mu nkuŋŋaana.
Omusingi gwa Bayibuli: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”—Matayo 5:3.
Weebuuze: ‘Nfuba okukuuma okukkiriza kwange nga kunywevu? Nkulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwange, oba nzikiriza ebintu ebirala okumpugula?’
Ky’olina okumanya: Omuntu gw’oba oyagala okufumbiriganwa naye ayagala omuntu omulungi, n’olwekyo bw’ofuba okuba omuntu omulungi, kijja kuba kyangu okusikiriza omuntu alinga ggwe.