Bayibuli Eyogera Ki ku ky’Abantu aba Langi ez’Enjawulo Okufumbiriganwa?
Bayibuli ky’egamba
Katonda akkiriza omusajja n’omukazi aba langi ez’enjawulo okufumbiriganwa, kubanga abantu bonna ka babe ba langi ki abatwala okuba nga benkanankana. Bayibuli egamba nti: ‘Katonda tasosola mu mawanga.’—Ebikolwa 10:34, 35.
Lowooza ne ku byawandiikibwa bino ebirala.
Abantu aba langi ez’enjawulo bonna balina ensibuko y’emu
Abantu bonna baasibuka mu Adamu omuntu eyasooka ne mukyala we Kaawa Bayibuli gw’eyita “nnyina w’abo bonna abalamu.” (Olubereberye 3:20) Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti Katonda “yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna.” (Ebikolwa 17:26) Ka babe ba langi ki, abantu bonna baava mu maka gamu. Naye watya singa mu kitundu mw’obeera obusosoze mu mawanga ne mu langi bungi nnyo?
Abantu ab’amagezi bateesaganya
Wadde nga Katonda akkiriza abantu aba langi ez’enjawulo okufumbiriganwa, abantu abamu balina endowooza ya njawulo ku ya Katonda mu nsonga eyo. (Isaaya 55:8, 9) Bw’oba oteekateeka okuwasa oba okufumbirwa omuntu owa langi endala, musaanidde okusooka okwogera ku bintu bino wammanga:
Munaakola ki okusobola okwaŋŋanga ebyo abantu ab’omu kitundu oba ab’eŋŋanda zammwe bye banaaboogerera?
Munaayamba mutya abaana bammwe okwaŋŋanga ekizibu eky’okusosolwa?
Okwogera ku bintu ebyo kijja kubaganyula nnyo mu bufumbo bwammwe.—Engero 13:10; 21:5.