OLUYIMBA 156
Okukkiriza Kunfuula Muvumu
1. Lwaki nty’e mpologoma?
Wadd’o mulabe yenna?
Nga Yakuwa ’li nange,
Siyinza kwekweka.
Katonda wange tandeka.
(CHORUS)
’Kukkiriza kwe kunnyamb’o kuguma;
Nnengera ebirungi mu maaso
Yakuwa ggwe nneesiga
Ndi mugumu ddala,
Nkimanyi nti tanjabulira—
Nkikakasa.
2. Bannaff’a baatusooka
Baakuuma obwesigwa.
Olw’okukkiriza,
Baagumiikiriza
Bajja kuweebwa empeera.
(CHORUS)
’Kukkiriza kwe kunnyamb’o kuguma;
Nnengera ebirungi mu maaso.
Yakuwa ggwe nneesiga
Ndi mugumu ddala
Nkimanyi nti tanjabulira—
Nkikakasa.
(BRIDGE)
’Kukkiriza kunfuula muvumu.
Essuubi lyange kkakafu
Nnandizze wa
Nga sirina kukkiriza
Nti ennakw’e jja kukoma?
3. Katonda ’tusuubizza
Ebirungi bingi.
Nnin’o kuguma.
Nkimanyidde ddala
Nti Yakuwa ’jja kuwangula.
(CHORUS)
’Kukkiriza kwe kunnyamb’o kuguma;
Nnengera ebirungi mu maaso.
Yakuwa ggwe nneesiga
Ndi mugumu ddala
Nkimanyi nti tanjabulira—
Nkikakasa.
Nkikakasa.
(Laba ne Beb. 11:1-40.)