EKIBUUZO 1
Katonda y’Ani?
“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”
“Mumanye nti Yakuwa ye Katonda. Ye yatutonda era tuli babe.”
“Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange; ekitiibwa kyange sirina mulala gwe nkiwa, n’ettendo lyange siriwa bifaananyi byole.”
“Buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.”
“Kya lwatu, buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda.”
“Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe. Ani yatonda ebintu ebyo? Y’Oyo aggyayo eggye lyabyo okusinziira ku muwendo gwabyo; byonna abiyita amannya. Olw’amaanyi ge amangi ennyo n’olw’amaanyi ge agawuniikiriza, tewali na kimu ku byo kibulako.”