1 Abakkolinso 10:1-33
10 Kaakano ab’oluganda, njagala mukitegeere nti bajjajjaffe bonna baali wansi w’ekire+ era bonna baayita mu nnyanja,+
2 bonna baabatizibwa ng’abagoberezi ba Musa bwe baali wansi w’ekire era bwe baayita mu nnyanja;
3 bonna baalya emmere y’emu ey’eby’omwoyo,+
4 era bonna baanywa eky’okunywa kye kimu eky’eby’omwoyo.+ Kubanga banywanga amazzi agaava mu lwazi olw’eby’omwoyo olwabagobereranga, era olwazi olwo lwali lukiikirira Kristo.+
5 Naye abasinga obungi ku bo Katonda teyabasiima, kyebaava bafiira mu ddungu.+
6 Ebintu bino byafuuka byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebintu ebibi nga bo bwe baakola.+
7 Temusinzanga bifaananyi ng’abamu ku bo bwe baakola; nga bwe kyawandiikibwa nti: “Abantu ne batuula, ne balya, ne banywa, oluvannyuma ne bayimuka okwesanyusaamu.”+
8 Tetwendanga* ng’abamu ku bo bwe baayenda, abantu 23,000 ne bafa ku lunaku lumu.+
9 Tetugezesanga Yakuwa*+ ng’abamu ku bo bwe baamugezesa emisota ne gibazikiriza.+
10 Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe beemulugunya,+ ne bazikirizibwa omuzikiriza.+
11 Ebintu bino byabatuukako bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa okutulabula ffe+ abatuukiddwako enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.*
12 N’olwekyo, alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa.+
13 Okukemebwa kwonna kwe mufuna kwekwo abantu bonna kwe bafuna.+ Naye Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira,+ naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.+
14 Kale abaagalwa, mudduke okusinza ebifaananyi.+
15 Njogera nammwe ng’ayogera n’abantu abategeera; mwesalirewo ku ekyo kye ŋŋamba.
16 Ekikopo eky’omukisa kye tusabira omukisa, si kwe kufuna emiganyulo mu musaayi gwa Kristo?+ Omugaati gwe tumenya, si kwe kufuna emiganyulo mu mubiri gwa Kristo?+
17 Kubanga waliwo omugaati gumu, era naffe wadde nga tuli bangi, tuli omubiri gumu,+ kubanga ffenna tulya ku mugaati ogwo ogumu.
18 Mutunuulire Isirayiri ey’omubiri: Abo abalya ebiweebwayo tebagabanira wamu n’ekyoto?+
19 Kati olwo kiki kye ntegeeza? Nti ekyo ekiweereddwayo eri ekifaananyi kiriko kye kigasa, oba nti ekifaananyi kiriko kye kigasa?
20 Nedda; ntegeeza nti ebintu amawanga bye gawaayo gabiwaayo eri badayimooni so si eri Katonda;+ era saagala mmwe mugabane ne badayimooni.+
21 Temuyinza kunywa ku kikopo kya Yakuwa* ne ku kikopo kya badayimooni; Temuyinza kulya ku “mmeeza ya Yakuwa”*+ ne ku mmeeza ya badayimooni.
22 Oba, ‘tuleetera Yakuwa* okukwatibwa obuggya’?+ Tumusinga amaanyi?
23 Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bigasa. Ebintu byonna bikkirizibwa, naye si byonna nti bizimba.+
24 Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, wabula anoonye ebigasa abalala.+
25 Buli ekitundibwa mu katale k’ennyama mukiryenga, nga temubuuza bibuuzo olw’okutya nti omuntu wammwe ow’omunda ajja kubalumiriza,
26 kubanga “ensi ne byonna ebigiriko bya Yakuwa.”*+
27 Singa atali mukkiriza abayita ne mugenda, mulye buli ky’abawa nga temubuuza bibuuzo olw’okutya nti omuntu wammwe ow’omunda ajja kubalumiriza.
28 Naye singa omuntu yenna abagamba nti: “Kino kiweereddwayo nga ssaddaaka,” temulya olw’oyo abagambye n’olw’omuntu ow’omunda.+
29 Bwe njogera ku muntu ow’omunda sitegeeza owammwe, wabula ow’omulala. Wadde nga nnina eddembe, saagala eddembe lyange okusalirwa omusango okusinziira ku muntu ow’omunda ow’omulala.+
30 Bwe ndya nga nneebazizza, lwaki nvumirirwa olw’ekyo kye ndya nga nneebazizza?+
31 N’olwekyo, obanga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekintu ekirala kyonna, mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.+
32 Temwesittazanga Bayudaaya, wadde Abayonaani, wadde ekibiina kya Katonda,+
33 nga nange bwe nsanyusa abantu bonna mu bintu byonna, nga seenoonyeza bigasa nze+ wabula ebigasa abangi, basobole okulokolebwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.