1 Samwiri 17:1-58
17 Awo Abafirisuuti+ ne bakuŋŋaanya amagye* gaabwe okulwana. Baakuŋŋaanira e Soko+ ekiri mu Yuda, ne basiisira wakati wa Soko ne Azeka,+ mu Efesu-dammimu.+
2 Sawulo n’abasajja ba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Kiwonvu Ela,+ era ne basimba ennyiriri okulwana n’Abafirisuuti.
3 Abafirisuuti baali ku lusozi olwali ku luuyi olumu, ate ng’Abayisirayiri bali ku lusozi olwali ku luuyi olulala, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.
4 Awo mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne wavaayo omulwanyi ayitibwa Goliyaasi+ ow’e Gaasi,+ ng’aweza mita nga ssatu* obuwanvu.
5 Ku mutwe gwe kwaliko sseppeewo ey’ekikomo, era yali ayambadde ekyambalo eky’olutalo ekyaliko obuntu obw’ekyuma obulinga amagalagamba. Obuzito bw’ekyambalo ky’olutalo+ eky’ekikomo bwali sekeri 5,000.*
6 Ate era yali ayambadde ebibikka amagulu eby’ekikomo, ng’ayambalidde n’effumu+ ery’ekikomo ku mugongo.
7 Olunyago lw’effumu lye lwali ng’omuti ogulukirwako engoye,+ ate omutwe gw’effumu lye gwali guzitowa sekeri 600;* oyo eyamukwatiranga engabo ye yali amukulembeddemu.
8 Awo Goliyaasi n’ayimirira n’ayogerera waggulu n’agamba eggye lya Isirayiri+ nti: “Lwaki muvuddeyo ne musimba ennyiriri okulwana? Siri Mufirisuuti, era mmwe temuli baweereza ba Sawulo? Mulonde omusajja aserengete gye ndi.
9 Bw’anaalwana nange n’anzita, tujja kufuuka baweereza bammwe. Naye bwe nnaamuwangula ne mmutta, mujja kufuuka baweereza baffe mutuweerezenga.”
10 Omufirisuuti era n’agamba nti: “Nsoomooza* eggye lya Isirayiri+ olwa leero. Mumpe omusajja tulwane!”
11 Sawulo n’Abayisirayiri bonna bwe baawulira ebigambo by’Omufirisuuti ebyo, ne batya nnyo.
12 Dawudi yali mutabani wa Yese+ Omwefulaasi+ ow’e Besirekemu+ eky’omu Yuda. Yese yalina abaana ab’obulenzi munaana,+ era mu kiseera kya Sawulo yali akaddiye.
13 Batabani ba Yese abasatu abakulu baali bagoberedde Sawulo mu lutalo.+ Amannya ga batabani be abasatu abaali bagenze mu lutalo ge gano: Omukulu yali ayitibwa Eriyaabu,+ ow’okubiri yali ayitibwa Abinadaabu,+ ate ow’okusatu yali ayitibwa Samma.+
14 Dawudi ye yali asembayo obuto,+ era bakulu be abo abasatu baali bagoberedde Sawulo.
15 Dawudi yagendanga ewa Sawulo nga bw’addayo e Besirekemu okulunda endiga za kitaawe.+
16 Omufirisuuti yavangayo n’ayimirira mu maaso gaabwe n’abasoomooza ku makya n’akawungeezi okumala ennaku 40.
17 Awo Yese n’agamba Dawudi mutabani we nti: “Kwata efa* eno ey’emmere ey’empeke ensiike n’emigaati gino ekkumi, ogende mangu obitwalire baganda bo mu lusiisira.
18 Twala n’ebigera bino ekkumi eby’amata obiwe omukulu w’olukumi, olabe ne baganda bo bwe bali, era obaggyeko ekintu ekikakasa nti bali bulungi, okireete.”
19 Baganda ba Dawudi baali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri abalala bonna mu Kiwonvu Ela,+ nga balwana n’Abafirisuuti.+
20 Awo Dawudi n’agolokoka ku makya nnyo, endiga n’azirekera omuntu omulala, n’apakira ebintu n’agenda, nga kitaawe Yese bwe yali amulagidde. Bwe yatuuka mu lusiisira, yasanga ng’eggye ligenda mu ddwaniro, era nga balaya enduulu z’olutalo.
21 Awo Abayisirayiri n’Abafirisuuti ne basimba ennyiriri, nga buli ggye lyolekedde linnaalyo.
22 Amangu ago Dawudi n’alekera omukuumi w’ebitereke ekitereke kye, n’adduka n’agenda mu ddwaniro. Bwe yatuukayo, n’abuuza ebikwata ku baganda be.+
23 Bwe yali akyayogera, omulwanyi ayitibwa Goliyaasi,+ Omufirisuuti ow’e Gaasi, n’avaayo mu nnyiriri z’Abafirisuuti, n’atandika okwogera ebigambo bye bimu nga bye yayogeranga bulijjo,+ Dawudi n’abiwulira.
24 Abasajja ba Isirayiri bonna bwe baalaba omusajja oyo ne batya nnyo+ ne bamudduka.
25 Abasajja ba Isirayiri ne bagamba nti: “Omusajja oyo avuddeyo mumulabye? Avuddeyo okusoomooza Isirayiri.+ Omuntu anaamutta kabaka ajja kumuwa eby’obugagga bingi, ajja kumuwa ne muwala we,+ ate ab’ennyumba ya kitaawe tebajja kuwanga musolo wadde okukozesebwanga emirimu mu Isirayiri.”
26 Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bayimiridde okumpi naye nti: “Omuntu anatta Omufirisuuti oyo n’aggya ekivume ku Isirayiri, anaaweebwa mpeera ki? Omusajja oyo Omufirisuuti atali mukomole yeeyita ki, okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?”+
27 Awo abantu ne bamugamba ebigambo bye bimu nga bye baali bamugambye mu kusooka nti: “Eno ye mpeera eneeweebwa omuntu anaamutta.”
28 Muganda we eyali asinga obukulu Eriyaabu+ bwe yawulira Dawudi ng’ayogera n’abasajja, n’amusunguwalira nnyo, n’amubuuza nti: “Kiki ekikuleese eno, era endiga ezo entono ozirekedde ani mu ddungu?+ Mmanyi bulungi bwe weetulinkiriza era n’ebiruubirirwa ebikyamu eby’omutima gwo; ekikuleese eno kujja kulaba lutalo.”
29 Awo Dawudi n’amuddamu nti: “Kati nkoze ki? Mbadde mbuuza bubuuza kibuuzo!”
30 Awo Dawudi n’ava ku Eriyaabu n’akyukira omuntu omulala n’amubuuza ekibuuzo kye kimu kye yali abuuzizza mu kusooka,+ era abantu ne bamuddamu nga bwe baali baamuzzeemu mu kusooka.+
31 Waaliwo abantu abaawulira ebyo Dawudi bye yayogera, ne babibuulira Sawulo, Sawulo n’amutumya.
32 Dawudi n’agamba Sawulo nti: “Abantu ka baleme kuggwaamu maanyi.* Omuweereza wo ajja kugenda alwane n’Omufirisuuti oyo.”+
33 Naye Sawulo n’agamba Dawudi nti: “Tosobola kulwanyisa Mufirisuuti oyo, kubanga oli mwana bwana,+ ate nga ye abadde musirikale* okuviira ddala mu buvubuka bwe.”
34 Dawudi n’agamba Sawulo nti: “Omuweereza wo mulunzi wa ndiga za kitaawe, era lumu empologoma+ yajja n’eggya endiga mu kisibo n’egitwala, ate olulala eddubu nalyo lyakola ekintu kye kimu.
35 Nnabiwondera ne mbikuba ne mbisuuza endiga. Bwe byasituka okunnwanyisa, ne mbikwata ebirevu* ne mbikuba ne mbitta.
36 Omuweereza wo yatta empologoma n’eddubu, era Omufirisuuti oyo atali mukomole ajja kuba ng’ekimu ku byo, kubanga asoomoozezza* eggye lya Katonda omulamu.”+
37 Dawudi era n’agattako nti: “Yakuwa eyannunula mu maala g’empologoma n’ag’eddubu, y’ajja okunnunula ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.”+ Sawulo n’agamba Dawudi nti: “Genda; Yakuwa abeere naawe.”
38 Awo Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye. Yamussaako sseppeewo ey’ekikomo ku mutwe, oluvannyuma n’amwambaza ekyambalo eky’olutalo.
39 Awo Dawudi ne yeesiba ekitala kye ku byambalo bye, n’agezaako okutambula naye n’alemererwa, olw’okuba yali tabimanyidde. Dawudi n’agamba Sawulo nti: “Sisobola kugendera mu bino, kubanga sibimanyidde.” Awo Dawudi n’abyeyambulamu.
40 N’akwata omuggo gwe, era n’alonda mu kagga* amayinja ataano amaweweevu, n’agateeka mu kasawo ke ak’omusumba w’endiga, ng’akutte envuumuulo ye.+ Awo n’atandika okusemberera Omufirisuuti.
41 Omufirisuuti n’agenda ng’asemberera Dawudi, ng’akulembeddwamu omusajja eyamukwatiranga engabo.
42 Omufirisuuti bwe yalaba Dawudi, n’amunyooma, kubanga yali muvubuka buvubuka era ng’alabika bulungi.+
43 Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti: “Ndi mbwa+ olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Awo Omufirisuuti n’akolimira Dawudi mu mannya ga bakatonda be.
44 Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti: “Jjangu gye ndi, omulambo gwo ngugabule ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”
45 Awo Dawudi n’addamu Omufirisuuti nti: “Ojja gye ndi ng’olina ekitala n’amafumu+ abiri, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Yakuwa ow’eggye,+ Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomoozezza.*+
46 Olwa leero Yakuwa ajja kukugabula mu mukono gwange,+ era nja kukutta nkutemeko omutwe; era olwa leero emirambo gy’eggye ly’Abafirisuuti nja kugigabula ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko; era abantu mu nsi yonna bajja kumanya nti mu Isirayiri mulimu Katonda.+
47 Era abo bonna abakuŋŋaanidde wano bajja* kumanya nti ekitala n’effumu Yakuwa si by’akozesa okulokola,+ kubanga olutalo lwa Yakuwa,+ era mmwenna ajja kubawaayo mu mukono gwaffe.”+
48 Awo Omufirisuuti ne yeeyongera okusembera asisinkane Dawudi, ne Dawudi n’adduka mangu ng’ayolekera eddwaniro okusisinkana Omufirisuuti.
49 Dawudi n’akwata mu nsawo ye, n’aggyamu ejjinja, n’alivuumuula, n’akuba Omufirisuuti mu kyenyi, ejjinja ne limuyingira mu kyenyi n’agwa nga yeevuunise.+
50 Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti ng’akozesa ejjinja n’envuumuulo; yamutta, wadde nga teyalina kitala mu mukono gwe.+
51 Dawudi ne yeeyongera okudduka n’ayimirira awaali Omufirisuuti, n’aggya ekitala ky’Omufirisuuti+ mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe okukakasa nti afiiridde ddala. Abafirisuuti bwe baalaba ng’omusajja waabwe omuzira afudde, ne badduka.+
52 Awo abasajja ba Isirayiri n’aba Yuda ne baleekaana, ne bawondera Abafirisuuti okuviira ddala mu kiwonvu+ okutuukira ddala ku miryango gya Ekulooni,+ era emirambo gy’Abafirisuuti abaali battiddwa gyali gigudde mu luguudo okuva e Saalayimu+ okutuukira ddala e Gaasi n’e Ekulooni.
53 Abayisirayiri bwe baakomawo nga bava okuwondera Abafirisuuti, baanyaga ensiisira zaabwe.
54 Awo Dawudi n’akwata omutwe gw’Omufirisuuti n’agutwala e Yerusaalemi, naye eby’okulwanyisa by’Omufirisuuti n’abiteeka mu weema ye.+
55 Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’agenda okwaŋŋanga Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri+ omukulu w’eggye nti: “Abuneeri, omuvubuka oyo mutabani w’ani?”+ Abuneeri n’amuddamu nti: “Nga bw’oli omulamu, Ai kabaka, simanyi!”
56 Awo kabaka n’amugamba nti: “Buuliriza, omanye taata w’omuvubuka oyo.”
57 Dawudi olwakomawo ng’amaze okutta Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi akutte omutwe gw’Omufirisuuti.+
58 Awo Sawulo n’amubuuza nti: “Muvubuka, oli mutabani w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti: “Ndi mutabani wa muweereza wo Yese+ Omubesirekemu.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ensiisira.”
^ Obut., “emikono mukaaga n’oluta lw’engalo lumu.”
^ Kilo nga 57. Laba Ebyong. B14.
^ Kilo nga 6.84. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “Nvuma.”
^ Lita nga 22. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “mutima.”
^ Oba, “musajja wa ntalo.”
^ Oba, “emba.”
^ Obut., “avumye.”
^ Obut., “gw’ovumye.”
^ Obut., “ekibiina kino kyonna kijja.”