2 Peetero 1:1-21
1 Nze Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abo abaafuna okukkiriza okw’omuwendo omungi ng’okwaffe okuyitira mu butuukirivu bwa Katonda waffe n’Omulokozi Yesu Kristo:
2 Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibongerweko olw’okutegeerera ddala+ Katonda ne Mukama waffe Yesu.
3 Kubanga amaanyi ga Katonda gatuwadde* ebintu byonna ebitusobozesa okuba n’obulamu obw’okwemalira ku Katonda, okuyitira mu kutegeerera ddala Oyo eyatuyita+ olw’ekitiibwa kye n’obulungi bwe.
4 Okuyitira mu bintu ebyo, atuwadde* ebisuubizo eby’omuwendo era eby’ekitalo,+ okuyitira mu byo musobole okugabana ku kitiibwa kya Katonda ng’ebitonde eby’omwoyo,+ nga mumaze okulekayo empisa embi ez’ensi ezireetebwa okwegomba okubi.
5 Olw’ensonga eno, mufubenga nnyo+ okwongera ku kukkiriza kwammwe obulungi,+ ku bulungi bwammwe, okumanya,+
6 ku kumanya kwammwe, okwefuga, ku kwefuga kwammwe,+ okugumiikiriza, ku kugumiikiriza kwammwe, okwemalira ku Katonda,+
7 ku kwemalira ku Katonda, okwagalana ng’ab’oluganda, ku kwagalana ng’ab’oluganda, okwagala.+
8 Kubanga bwe muba n’ebintu ebyo mu bungi, bijja kubakugira okuba abantu abatakola oba abatabala bibala+ bwe kituuka ku kussa mu nkola ebintu bye mwategeera obulungi ebikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo.
9 Kubanga omuntu bw’ataba na bintu ebyo, aba muzibe, era aba takkiriza kulaba kitangaala,*+ ate era aba yeerabidde nti yanaazibwako ebibi bye+ eby’emabega.
10 N’olwekyo ab’oluganda, mufube nnyo okusigala nga muli beesigwa ng’abo abaayitibwa+ era abaalondebwa; kubanga bwe mweyongera okukola ebintu bino, temujja kugwa.+
11 Bwe mukola mutyo, muliyingizibwa n’ekitiibwa mu Bwakabaka obutaliggwaawo+ obwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo.+
12 Olw’ensonga eyo, nja kubajjukizanga ebintu bino wadde nga mubimanyi era nga munyweredde mu mazima ge mwayiga.
13 Naye nga nkyali mu mubiri guno,*+ nkiraba nga kirungi okubajjukizanga+ ebintu bino,
14 kubanga nkimanyi nti nnaatera okuva mu mubiri guno* nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.+
15 Ate era nja kufubanga nga bwe nsobola, musobole okwejjukizanga* ebintu bino nga mmaze okuvaawo.
16 Bwe twabategeeza obuyinza bwa Mukama waffe Yesu Kristo n’okubeerawo kwe, tetwasinziira ku ngero ez’obulimba ezaagunjibwa obugunjibwa, naye twalabako n’amaaso gaffe ekitiibwa kye.+
17 Kubanga yafuna okuva eri Katonda Kitaffe ekitiibwa n’ettendo, Katonda ensibuko y’ekitiibwa ekitagambika bwe yamugamba ebigambo bino: “Ono ye mwana wange omwagalwa gwe nsiima.”+
18 Ebigambo bino twabiwulira nga biva mu ggulu bwe twali naye ku lusozi olutukuvu.
19 N’olwekyo, twongedde okukakasa ekigambo ky’obunnabbi era mukola bulungi okukissaako omwoyo ng’ettaala+ eyakira mu kizikiza (okutuusa obudde lwe busaasaana era emmunnyeenye ey’oku makya+ n’evaayo) mu mitima gyammwe.
20 Okusookera ddala, mukimanyi nti tewali bunnabbi bwonna mu Byawandiikibwa busibuka mu kulowooza kw’abantu.
21 Kubanga tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu,+ naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “gatuwadde ku bwereere.”
^ Oba, “atuwadde ku bwereere.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “muzibe, alaba kumpi.”
^ Obut., “weema eno.”
^ Obut., “weema eno.”
^ Oba, “okwogeranga.”