Eby’Abaleevi 26:1-46
26 “‘Temwekoleranga bakatonda abatalina mugaso,+ era temwesimbiranga ebifaananyi ebyole+ oba empagi ezisinzibwa, era temuteekanga mu nsi yammwe ekifaananyi ekikoleddwa mu jjinja+ okukivunnamira;+ kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe.
2 Mukwatenga ssabbiiti zange era ekifo kyange ekitukuvu mukiwenga ekitiibwa.* Nze Yakuwa.
3 “‘Bwe muneeyongera okutambulira mu mateeka gange n’okukwata ebiragiro byange,+
4 nnaabawanga enkuba mu kiseera kyayo ekituufu,+ n’ensi eneebalanga emmere,+ era n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala.
5 Ekiseera kyammwe eky’okuwuula kinaatuukanga ku makungula g’ezzabbibu, era n’amakungula gammwe ag’ezzabbibu ganaatuukanga ku kiseera eky’okusiga; era munaalyanga emmere yammwe ne mukkuta era munaabeeranga mu mirembe mu nsi yammwe.+
6 Nja kuleeta emirembe mu nsi,+ era mujja kugalamira awatali n’omu abatiisa;+ nja kumalawo ensolo enkambwe mu nsi, era ekitala ky’olutalo tekiriyita mu nsi yammwe.
7 Mujja kugobanga abalabe bammwe, era mujja kubattanga n’ekitala.
8 Abataano ku mmwe bajja kugobanga 100, ne 100 ku mmwe bajja kugobanga 10,000 era mujja kuttanga abalabe bammwe n’ekitala.+
9 “‘Nja kubalaga ekisa muzaale abaana bangi era mwale,+ era nja kukuuma endagaano gye nnakola nammwe.+
10 Bwe munaabanga mukyalya bye mwakungula omwaka oguwedde, kijja kubeetaagisanga okufulumya ebikadde mufune aw’okuteeka ebiggya.
11 Nja kuteeka weema yange entukuvu mu mmwe+ era siribeesamba.
12 Nja kutambuliranga mu mmwe era nja kubeeranga Katonda wammwe,+ era nammwe mubeerenga bantu bange.+
13 Nze Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri muleme kuddamu kuba baddu baabwe, era nnamenya ekikoligo kyammwe ne mbatambuza nga mwesimbye.
14 “‘Kyokka bwe mutampulirize oba bwe mutaakwate biragiro bino byonna,+
15 era bwe munaagaana okukwata amateeka gange,+ era bwe munaakyawa ebiragiro byange ne mutabikwata byonna, era ne mumenya endagaano yange,+
16 nja kubakola bino: nja kubabonereza mbaleeteko ennaku ey’amaanyi, n’endwadde y’akafuba n’omusujja ogw’amaanyi, ebinaaleeteranga amaaso gammwe okuyimbaala era ne bibanafuya. Mujja kusigiranga bwereere, kubanga ebyo bye munaasiganga bijja kuliibwanga abalabe bammwe.+
17 Nja kuboolekezanga obwenyi bwange, era abalabe bammwe bajja kubawangulanga;+ abo abatabaagala bajja kubalinnyiriranga,+ era mujja kuddukanga nga tewali abagoba.+
18 “‘Kyokka era bwe mutampulirize wadde nga mutuukiddwako ebintu ebyo, ekibonerezo nja kukikubisaamu emirundi musanvu olw’ebibi byammwe.
19 Nja kumenya amalala gammwe amangi era eggulu lyammwe nja kulifuula ng’ekyuma+ n’ensi yammwe ngifuule ng’ekikomo.
20 Amaanyi gammwe gajja kugenderanga bwereere; kubanga ensi yammwe tejja kubazanga mmere,+ n’emiti egiri mu nsi tegijja kussangako bibala.
21 “‘Naye bwe muneeyongera okuwaganyala era ne mutampuliriza, ekibonerezo nja kukikubisaamu emirundi musanvu, okusinziira ku bibi byammwe.
22 Nja kubasindikira ensolo ez’omu nsiko+ zitte abaana bammwe+ n’ebisolo byammwe, era zijja kubakendeeza obungi, era n’amakubo gammwe tegajja kuba na bagatambuliramu.+
23 “‘Wadde ng’ebintu ebyo binaaba bibatuuseeko naye ne mutakyuka,+ era ne mweyongera okuwaganyala,
24 kale nange nja kufuuka mulabe wammwe, era nja kubabonereza emirundi musanvu olw’ebibi byammwe.
25 Nja kubaleetako ekitala okubawoolerako eggwanga olw’okumenya endagaano yange.+ Bwe munaddukiranga mu bibuga byammwe, nja kubasindikiranga endwadde+ era mujja kuweebwayo mu mukono gw’abalabe bammwe.+
26 Bwe nnaasaanyaawo amaterekero gammwe ag’emmere,*+ abakazi kkumi banaafumbiranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu ne bagibawa nga babapimiddeko bupimizi;+ era munaalyanga ne mutakkuta.+
27 “‘Ebyo bwe binaabatuukako naye ne mutampuliriza era ne mweyongera okuwaganyala,
28 nange nja kufuukira ddala mulabe wammwe,+ era nja kubabonereza emirundi musanvu olw’ebibi byammwe.
29 Mujja kulya batabani bammwe ne bawala bammwe.+
30 Nja kuzikiriza ebifo byammwe ebigulumivu+ era nsaanyeewo ebyoterezo byammwe eby’obubaani era emirambo gyammwe nja kugituuma ku mirambo gy’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza,*+ era nja kubavaako nga mbeetamiddwa.+
31 Nja kuzikiriza ebibuga byammwe+ era ebifo byammwe ebitukuvu nja kubifuula matongo, era sijja kuwunyiriza vvumbe ddungi* erya ssaddaaka zammwe.
32 Ensi yammwe nja kugifuula matongo,+ era abalabe bammwe abanaagibaamu bajja kugitunuulira beewuunye.+
33 Nja kubasaasaanyiza mu mawanga,+ era nja kusowolayo ekitala kibagoberere;+ era ensi yammwe ejja kufuulibwa matongo,+ n’ebibuga byammwe bijja kuzikirizibwa.
34 “‘Mu kiseera ekyo kyonna ensi ky’erimala ng’eri matongo nga muli mu nsi y’abalabe bammwe, ensi erisasula ssabbiiti zaayo. Mu kiseera ekyo, ensi eriwummula* kubanga erina okusasula ssabbiiti zaayo.+
35 Ekiseera kyonna w’eribeerera amatongo eriba ewummudde kubanga teyawummula mu kiseera we mwandibadde mukwatira ssabbiiti nga mukyagibeeramu.
36 “‘Abo abaliwonawo ku mmwe,+ ndijjuza emitima gyabwe obuyinike mu nsi z’abalabe baabwe, era okuwulira ekikoola ekyenyeenya kiribaleetera okudduka, era balidduka ng’abadduka ekitala era baligwa nga tewali abagoba.+
37 Era balirinnyaganako bokka na bokka nga balinga abadduka ekitala, wadde nga waliba tewali abagoba. Temulisobola kulwanyisa balabe bammwe.+
38 Mulifiira mu mawanga,+ era ensi y’abalabe bammwe eribalya.
39 Abo abalisigalawo ku mmwe balivunda ne basaanawo mu nsi z’abalabe bammwe+ olw’ensobi zaabwe. Balivunda ne basaanawo olw’ensobi za bakitaabwe.+
40 Balyatula ensobi zaabwe+ era n’ensobi za bakitaabwe awamu n’obutali bwesigwa bwabwe, era balikkiriza nti tebaali beesigwa bwe bampaganyalirako.+
41 Nange ndifuuka mulabe waabwe+ ne mbatwala mu nsi y’abalabe baabwe.+
“‘Oboolyawo omutima gwabwe ogutali mukomole lwe gulitoowazibwa,+ ne basasulira ensobi zaabwe.
42 Era ndijjukira endagaano gye nnakola ne Yakobo,+ n’endagaano gye nnakola ne Isaaka,+ n’endagaano gye nnakola ne Ibulayimu,+ era ndijjukira ensi.
43 Ekiseera ensi ky’erimala nga tebagiriimu, eriba esasula ssabbiiti zaayo+ era eriba matongo, era nabo baliba basasulira ebibi byabwe olw’obutagoberera biragiro byange n’okukyawa amateeka gange.+
44 Naye wadde ng’ebyo byonna biriba bibatuuseeko nga bali mu nsi y’abalabe baabwe, siribeesambira ddala+ wadde okubakyawa ne ntuuka n’okubazikiriza, ne mmenya endagaano+ gye nnakola nabo, kubanga nze Yakuwa Katonda waabwe.
45 Era ku lwabwe ndijjukira endagaano gye nnakola ne bajjajjaabwe+ be nnaggya mu nsi ya Misiri ng’amawanga galaba,+ ndyoke nkyoleke nti ndi Katonda wammwe. Nze Yakuwa.’”
46 Ago ge mateeka n’ebiragiro Yakuwa bye yawa Abayisirayiri ku Lusozi Sinaayi ng’ayitira mu Musa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “mukityenga.”
^ Obut., “emiti gyammwe egy’emigaati.” Oboolyawo kitegeeza emiti kwe baaterekanga emigaati.
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa wano kirina akakwate n’ekigambo ekitegeeza “obusa,” era nga kikozesebwa ku kintu ekinyoomebwa.
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Oba, “erikwata ssabbiiti.”