Abaruumi 3:1-31

  • “Katonda ajja kuba wa mazima” (1-8)

  • Abayudaaya n’Abayonaani bafugibwa ekibi (9-20)

  • Obutuukirivu bwesigamye ku kukkiriza (21-31)

    • Bonna tebatuuka ku kitiibwa kya Katonda (23)

3  Kati olwo kiki Omuyudaaya ky’asinga abalala, oba okukomolebwa kugasa ki?  Abasinga mu ngeri nnyingi. Ekisooka, Abayudaaya baakwasibwa ebigambo bya Katonda ebitukuvu.+  Kati olwo tugambe ki? Abamu bwe baba nga tebaayoleka kukkiriza, ekyo kiggyawo obwesigwa bwa Katonda?  N’akatono! Naye Katonda ajja kuba wa mazima,+ buli muntu ne bw’aba mulimba,+ nga bwe kyawandiikibwa nti: “Kyova obeera omutuukirivu mu bigambo byo era n’owangula ng’olamulwa.”+  Naye bwe kiba nti obutali butuukirivu bwaffe bukyoleka nti Katonda mutuukirivu, tunaagamba ki? Katonda bw’ayoleka obusungu bwe aba alaze obutali bwenkanya? (Njogera ng’omuntu.)  Nedda! Bwe kiba nti Katonda si mwenkanya, kati olwo anaasalira atya ensi omusango?+  Naye bwe kiba nti olw’obulimba bwange amazima ga Katonda geeyongedde okweyoleka era n’aweebwa ekitiibwa, kati olwo, lwaki nsalirwa omusango ng’omwonoonyi?  Lwaki tetugamba ng’abamu bwe batuwaayiriza nga bagamba nti ffe tugamba nti: “Ka tukole ebintu ebibi ebirungi biryoke bijje”? Omusango ogusalirwa abantu abo gwa bwenkanya.+  Kati olwo ffe Abayudaaya tusinga abalala? Nedda! Kubanga twagambye nti Abayudaaya n’Abayonaani bonna bafugibwa ekibi;+ 10  nga bwe kyawandiikibwa nti: “Tewali muntu mutuukirivu, wadde omu bw’ati;+ 11  tewali n’omu ategeera, tewali n’omu anoonya Katonda. 12  Abantu bonna baawaba, bonna wamu bafuuse abatagasa; tewali n’omu alaga kisa, tewali wadde omu bw’ati.”+ 13  “Emimiro gyabwe ntaana ezaasamye, ennimi zaabwe zoogera bya bulimba.”+ “Mu kamwa kaabwe mulimu obusagwa bw’emisota.”+ 14  “Era akamwa kaabwe kajjudde okukolima n’ebigambo ebyoleka obukyayi.”+ 15  “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi.”+ 16  “Amakubo gaabwe galimu okuzikiriza n’ennaku, 17  era tebamanyi kkubo lya mirembe.”+ 18  “Tebatya Katonda.”+ 19  Tumanyi nti ebintu byonna Amateeka bye gagamba, gabigamba abo abafugibwa Amateeka, buli kamwa kasobole okusirika era ensi yonna ebe ng’egwanira okubonerezebwa Katonda.+ 20  N’olwekyo, tewali ayinza kuyitibwa mutuukirivu mu maaso ge olw’okutuukiriza ebyo amateeka bye galagira,+ kubanga amateeka ge galeetera omuntu okumanya ekibi.+ 21  Naye awatali kwesigama ku mateeka, obutuukirivu bwa Katonda bwoleseddwa,+ era kino kyayogerwa mu Mateeka ne mu ebyo ebyawandiikibwa bannabbi;+ 22  era abo bonna abalina okukkiriza bafuuka batuukirivu mu maaso ga Katonda olw’okukkiririza mu Yesu Kristo. Kubanga tewaliiwo kusosola.+ 23  Kubanga bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda,+ 24  era baaweebwa buwa ekirabo+ eky’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso+ era baasumululwa ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.+ 25  Katonda yamuwaayo ng’ekiweebwayo ekitangirira+ tusobole okutabagana ne Katonda okuyitira mu kukkiririza mu musaayi gwe.+ Kino Katonda yakikola asobole okulaga nti yali mutuukirivu, kubanga yayoleka obugumiikiriza n’asonyiwa ebibi abantu bye baakola mu biseera eby’emabega, 26  era yayagala n’okulaga nti mutuukirivu mu kiseera kino,+ ng’omuntu akkiririza mu Yesu amuyita mutuukirivu.+ 27  Kati olwo waliwo ekintu kyonna ekituuleetera okwenyumiriza? Tekiriiwo. Tteeka ki eritatukkiriza kwenyumiriza? Ery’ebikolwa?+ Nedda, wabula etteeka ery’okukkiriza. 28  Kubanga tukitwala nti omuntu ayitibwa mutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kukola ebyo amateeka bye galagira.+ 29  Oba, Katonda wa Bayudaaya bokka?+ Era n’ab’amawanga si ye Katonda waabwe?+ Nabo ye Katonda waabwe.+ 30  Era okuva Katonda bw’ali omu,+ abakomole ajja kubayita batuukirivu+ olw’okukkiriza n’abatali bakomole ajja kubayita batuukirivu+ olw’okukkiriza kwabwe. 31  Kati olwo tuggyawo amateeka olw’okukkiriza kwaffe? N’akatono! Wabula tuganyweza bunyweza.+

Obugambo Obuli Wansi