Engero 1:1-33
1 Engero za Sulemaani,+ mutabani wa Dawudi,+ kabaka wa Isirayiri:+
2 Ezisobozesa omuntu okufuna* amagezi+ n’okuyigirizibwa;Ezisobozesa omuntu okutegeera ebigambo eby’amagezi;
3 Ezisobozesa omuntu okuyigirizibwa+ n’aba ow’amagezi,Omutuukirivu,+ omwenkanya,+ era omugolokofu;
4 Eziwa amagezi+ abo abatalina bumanyirivu;Ezisobozesa omuvubuka okufuna okumanya n’obusobozi bw’okulowooza obulungi.+
5 Omuntu ow’amagezi awuliriza era ne yeeyongera okuyiga;+Omuntu omutegeevu afuna obulagirizi obulungi*+
6 Asobole okutegeera engero, n’ebikokyo,Ebigambo eby’abagezigezi n’ebyo bye boogera mu ngeri y’okugereesa.+
7 Okutya Yakuwa* ye ntandikwa y’okumanya.+
Abasirusiru bokka be banyooma amagezi n’okubuulirirwa.+
8 Mwana wange, wuliriza kitaawo by’akuyigiriza,+Era tovanga ku ebyo nnyoko by’akuyigiriza.*+
9 Biringa omuge ogulabika obulungi ku mutwe gwo+Era biringa omukuufu omulungi mu bulago bwo.+
10 Mwana wange, ababi bwe bakusendasenda, tokkirizanga.+
11 Bwe bakugambanga nti: “Jjangu tugende ffenna,
Tuteege abantu tubatte.
Tujja kwekweka tulindirire abo abatalina musango.
12 Tujja kubamira nga balamu, ng’amagombe* bwe gakola,Nga balamba, ng’abo abakka mu kinnya.
13 Tunyage ebintu byabwe byonna eby’omuwendo;Tujjuze ennyumba zaffe omunyago.
14 Jjangu otwegatteko,Tujja kugabana kyenkanyi ebyo bye tunnabba.”*
15 Mwana wange, tobagobereranga.
Tokwatanga kkubo lyabwe,+
16 Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okukola ebibi;Banguwa okuyiwa omusaayi.+
17 Mazima tekigasa kutega kitimba ng’ekinyonyi kikulaba.
18 Ababi kyebava bateega okuyiwa omusaayi;Bateega abantu basaanyeewo obulamu bwabwe.
19 Ebyo bye bikolwa by’abo abaagala okwefunira ebintu mu makubo amakyamu,Ebijja okumalawo obulamu bw’abo ababifuna.+
20 Amagezi aga nnamaddala+ galeekaanira mu nguudo.+
Googerera waggulu mu bifo eby’olukale.+
21 Gakoowoolera mu masaŋŋanzira awaba abantu abangi.
Googerera ku miryango gy’ekibuga+ nti:
22 “Mmwe abatalina kye mumanyi mulituusa wa okwagala obutamanya?
Mmwe abasekerezi mulituusa wa okwagala okusekerera abalala?Nammwe abasirusiru mulituusa wa okukyawa okumanya?+
23 Mubeeko kye mukolawo nga mbanenyezza.*+
Ndyoke mbafukeko omwoyo gwange,Mbamanyise ebigambo byange.+
24 Kubanga nnakoowoola, naye ne mugaana okuwuliriza,Nnagolola omukono gwange, naye tewali n’omu yafaayo.+
25 Mwasambajja amagezi gonna ge nnabawa,Era mwagaana okubaako kye mukolawo nga mbanenyezza.
26 Nange nja kubasekerera nga mutuukiddwako akabi;Nja kubakudaalira nga kye mutya kibatuuseeko,+
27 Kye mutya bwe kinajja ng’enkuba erimu embuyaga,Akabi ne kabajjira ng’omuyaga,Era ennaku n’ebizibu bwe binaabajjira.
28 Olwo balinkoowoola, naye siribaddamu;Balinnoonya, naye tebalindaba,+
29 Kubanga baakyawa okumanya,+Era baasalawo obutatya Yakuwa.+
30 Baasambajja amagezi ge nnabawa;Baanyooma byonna bye nnabagamba nga mbanenya.
31 N’olwekyo ebinaabatuukako bijja kuba bibagwanira,*+Bajja kukkuta enkwe zaabwe.
32 Obujeemu bw’abo abatalina bumanyirivu bulibassa,N’obuteefiirayo bw’abasirusiru bulibazikiriza.
33 Naye oyo ampuliriza aliba mirembe+Era talitya kabi konna.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “okumanya.”
^ Oba, “obulagirizi obw’amagezi.”
^ Oba, “Okuwa Yakuwa ekitiibwa.”
^ Oba, “ku tteeka lya nnyoko.”
^ Oba, “Tujja kuba n’ensawo emu.”
^ Oba, “Mukyuke nga mbanenyezza.”
^ Obut., “bajja kulya ku bibala by’ekkubo lyabwe.”