Engero 13:1-25
13 Omwana ow’amagezi akkiriza okubuulirira kwa kitaawe,+Naye omunyoomi tawuliriza ng’anenyezebwa.*+
2 Omuntu by’ayogera bye bimuviiramu ebirungi,+Naye ab’enkwe baagala bya bukambwe.
3 Oyo afuga akamwa ke* akuuma obulamu bwe,+Naye oyo ayasamya ennyo akamwa ke ajja kugwa mu mitawaana.+
4 Omugayaavu abaako ebintu bye yeegomba, naye tewali ky’alina,+Kyokka omunyiikivu afuna byonna by’ayagala.*+
5 Omutuukirivu akyawa obulimba,+Naye ebyo ababi bye bakola biswaza era biweebuula.
6 Obutuukirivu bukuuma oyo ataliiko kya kunenyezebwa,+Naye ebikolwa ebibi bisuula omwonoonyi.
7 Waliwo omuntu eyeeyisa ekigagga, naye nga talina kantu;+Ne wabaawo omulala eyeeyisa ng’omwavu, naye ng’alina eby’obugagga bingi.
8 Eby’obugagga by’omuntu bye binunula obulamu bwe,+Naye abaavu tebabaako kibatiisa.*+
9 Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,*+Naye ettaala y’ababi ejja kuzikizibwa.+
10 Okwetulinkiriza kuvaamu ennyombo,+Kyokka abo abanoonya okubuulirirwa* baba n’amagezi.+
11 Eby’obugagga ebifunibwa amangu* biggwaawo mangu,+Naye eby’obugagga omuntu by’afuna empolampola* byeyongera okwala.
12 Ekisuubirwa* bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala,+Naye ekyegombebwa bwe kifunibwa kiba ng’omuti ogw’obulamu.+
13 Oyo anyooma bye bamuyigiriza* ajja kwolekagana n’ebizibu ebinaavaamu,+Naye assa ekitiibwa mu kiragiro ajja kufuna empeera.+
14 Okuyigiriza kw’omuntu* ow’amagezi ye nsibuko y’obulamu,+Kubanga kuwonya omuntu emitego gy’okufa.
15 Omuntu omutegeevu aganja,Naye ekkubo ly’ab’enkwe lijjudde ebizibu.
16 Omuntu omutegeevu yeeyisa mu ngeri ey’amagezi,+Naye omusirusiru ayolesa obusirusiru bwe.+
17 Omubaka omubi agwa mu mitawaana,+Naye omubaka omwesigwa aleeta ebirungi.+
18 Atafaayo ku kubuulirirwa ayavuwala era aswala,Naye akkiriza okugololwa* agulumizibwa.+
19 Ekyegombebwa bwe kifunibwa kisanyusa omuntu,+Naye abasirusiru tebaagalira ddala kulekayo bibi.+
20 Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi,+Naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.+
21 Aboonoonyi ebizibu bibalondoola,+Naye abatuukirivu bafuna ebirungi.+
22 Omuntu omulungi alekera bazzukulu be eby’obusika,Naye obugagga bw’ababi buterekerwa batuukirivu.+
23 Ennimiro z’abaavu zibala emmere nnyingi,Naye eyinza* okutwalibwa olw’obutali bwenkanya.
24 Atakwatira mwana we muggo* aba tamwagala,+Naye oyo amwagala, anyiikira* okumukangavvula.+
25 Omutuukirivu alya n’akkuta,+Naye embuto z’ababi tezibaamu kantu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ng’agololwa.”
^ Oba, “eyeefuga mu by’ayogera.”
^ Obut., “ajja kugejja.”
^ Obut., “tebawulirayo abanenya.”
^ Obut., “kisanyuka.”
^ Oba, “abateesa.”
^ Oba, “Eby’obugagga ebiva mu butaliimu.”
^ Obut., “by’akuŋŋaanya n’engalo.”
^ Oba, “Essuubi.”
^ Oba, “ekigambo.”
^ Oba, “Etteeka ly’omuntu.”
^ Oba, “okuwabulwa.”
^ Oba, “ayinza.”
^ Oba, “Atakangavvula mwana we; atabonereza mwana we.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ayanguwa.”