Engero 6:1-35
6 Mwana wange, bw’oba nga weeyimiririra munno,+Bw’oba nga wakola endagaano n’omuntu gw’otomanyi,+
2 Bye wasuubiza bwe biba bikusudde mu mutego,Ng’ebigambo ebyava mu kamwa ko bikukwasizza,+
3 Kola bw’oti mwana wange, osobole okwewonya,Kubanga ogudde mu mukono gw’omuntu omulala:
Genda gy’ali weetoowaze, omwegayirire.+
4 Teweebaka,Era tosumagira okutuusa ng’omaze okukikola.
5 Mwetakkuluzeeko ng’enjaza bwe yeetakkuluza ku muyizzi,Era ng’ekinyonyi bwe kyetakkuluza ku oyo atega ebinyonyi.
6 Ggwe omugayaavu,+ genda eri enkuyege;Weetegereze bye zikola ofune amagezi.
7 Newakubadde tezirina muduumizi, mukulu, oba mufuzi,
8 Ziteekateeka emmere yaazo mu kiseera eky’omusana,+Era zikuŋŋaanya eby’okulya mu kiseera eky’amakungula.
9 Kale ggwe omugayaavu, onootuusa wa okwebaka?
Onoozuukuka ddi mu tulo two?
10 Bwe weebakamu katono, bw’osumagiramu katono,Era bw’ozinga emikono owummuleko,+
11 Obwavu bujja kukuzinda ng’omuzigu,N’obwetaavu bukuzinde ng’omusajja akutte eby’okulwanyisa.+
12 Omusajja omubi ataliiko ky’agasa agenda ayogera ebigambo eby’obulimba;+
13 Atta ku liiso,+ asiita ekigere, era awenyaawenya n’engalo ze.
14 Omutima gwe mwonoonefu,Era buli kiseera aba ateekateeka kukola bibi+ na kuleetawo njawukana.+
15 Akabi kyekanaava kamugwako embagirawo;Mu kaseera katono ajja kumenyebwa abe nga tasobola kuwona.+
16 Waliwo ebintu mukaaga Yakuwa by’akyawa;Weewaawo musanvu by’atayagalira ddala:
17 Amaaso ag’amalala,+ olulimi olulimba,+ n’emikono egiyiwa omusaayi ogutaliiko musango,+
18 Omutima ogugunja enkwe,+ ebigere ebidduka embiro okukola ebibi,
19 Omujulizi omulimba ayogera bulimba,+N’omuntu aleetawo enjawukana mu b’oluganda.+
20 Mwana wange, kwatanga ebiragiro bya kitaawo,Era tovanga ku ebyo nnyoko by’akuyigiriza.*+
21 Bulijjo bisibenga ku mutima gwo;Bisibenga mu bulago bwo.
22 Binaakukulemberanga ng’otambula;Binaakukuumanga nga weebase;Era binaayogeranga naawe* ng’ozuukuse.
23 Kubanga ekiragiro ttaala,+N’etteeka kitangaala,+Era okuwabulwa n’okukangavvulwa kkubo lya bulamu.+
24 Bijja kukukuuma owone omukazi omubi,+N’ebigambo ebisendasenda eby’omukazi omugwenyufu.*+
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,+Era tosikirizibwanga maaso ge amalungi,
26 Olwa malaaya, omusajja tasigaza kantu konna okuggyako omugaati,+Era muka omusajja aleetera omuntu okufiirwa obulamu bwe.
27 Omuntu asobola okuteeka omuliro mu kifuba kye ne gutayokya byambalo bye?+
28 Oba omuntu asobola okutambulira ku manda agookya ne gatamwokya bigere?
29 Bwe kityo bwe kiba eri omuntu eyeegatta ne muka munne;Omuntu eyeegatta naye talirema kubonerezebwa.+
30 Omuntu abba olw’okuba alumwa enjalaAbantu tebamunyooma.
31 Naye bwe bamukwata, aliwa emirundi musanvu,Era awaayo ebintu byonna eby’omuwendo eby’omu nnyumba ye.+
32 Omuntu yenna ayenda ku mukazi talina magezi;Oyo akikola azikiriza obulamu bwe.+
33 Afuna ebiwundu era afeebezebwa,+N’obuswavu tebulimuvaako.+
34 Kubanga obuggya buleetera omusajja nnyini mukazi okusunguwala ennyo;Tajja kusaasira ng’awoolera eggwanga.+
35 Tajja kukkiriza kuliyirirwa;*Ne bw’onoomuwa ebirabo ebyenkana wa, obusungu bwe tebujja kukkakkana.