Engero 8:1-36
8 Amagezi tegakoowoola?
N’okutegeera tekwogerera waggulu?+
2 Amagezi gayimirira ku bifunvu+ ku mabbali g’ekkubo,Ne mu masaŋŋanzira.
3 Ku miryango gy’ekibuga,Ku nzigi awayingirirwa,Gakoowoola nti:+
4 “Mmwe abantu, mbayita;Nkoowoola buli omu.*
5 Mmwe abatalina bumanyirivu, muyige okubeera ab’amagezi;+Mmwe abasirusiru, mufune omutima omutegeevu.
6 Muwulirize, kubanga bye njogera bikulu,Emimwa gyange bye gyogera bituufu;
7 Akamwa kange bye koogera bya mazima,Emimwa gyange gikyayira ddala ebintu ebibi.
8 Byonna akamwa kange bye koogera bya butuukirivu.
Tewali na kimu ku byo kinyooleddwanyooleddwa oba kikyamye.
9 Bitegeerekeka bulungi eri abategeevu,Era bituufu eri abo abafunye okumanya.
10 Mu kifo kya ffeeza, mulondewo bye mbayigiriza,Ne mu kifo kya zzaabu asinga obulungi, mulondewo okumanya,+
11 Kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja;*Ebintu ebirala byonna ebyegombebwa tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
12 Nze amagezi mbeera wamu n’okutegeera;Nfunye okumanya n’obusobozi bw’okulowooza obulungi.+
13 Okutya Yakuwa kwe kukyawa ebintu ebibi.+
Nkyawa okwegulumiza, amalala,+ ekkubo ebbi, n’ebigambo ebitasaana.+
14 Mbuulirira bulungi era nnina amagezi;+Okutegeera+ n’amaanyi+ byange.
15 Nnyamba bakabaka okufuga,Nnyamba abakungu okuteekawo amateeka ag’obutuukirivu.+
16 Nnyamba abafuzi okufuga,Era nnyamba abakungu okulamula mu butuukirivu.
17 Njagala abo abanjagala,N’abo abannoonya bajja kunzuula.+
18 Nnina obugagga n’ekitiibwa,Era nnina eby’obugagga eby’olubeerera n’obutuukirivu.
19 Ebyo bye ngaba bisinga zzaabu, wadde oyo alongooseddwa,Era ebirabo bye mbawa bisinga ffeeza asinga obulungi.+
20 Mu kkubo ery’obutuukirivu mwe ntambulira,Wakati mu mpenda ez’obwenkanya;
21 Abanjagala mbawa eby’obusika eby’omuwendo,Era nzijuza amaterekero gaabwe.
22 Yakuwa yasooka kutonda nze,+Nze ow’olubereberye mu mirimu gye egy’edda.+
23 Nnassibwawo dda nnyo,+Ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.+
24 Nnateekebwawo nga tewannabaawo nnyanja,+Wadde ensulo ezijjudde amazzi.
25 Nnateekebwawo ng’ensozi tezinnassibwawo,Era nga n’obusozi tebunnateekebwawo,
26 Nga tannatonda nsi n’ettale,N’ettaka ly’oku nsi eryasooka.
27 Bwe yali ateekateeka eggulu+ nnaliwo;Bwe yateekerawo amazzi ensalo,*+
28 Bwe yassaawo* ebire,Bwe yassaawo ensulo z’ennyanja,
29 Bwe yateerawo ennyanja ekiragiroEreme kusukka nsalo ze yateekawo,*+Bwe yassaawo emisingi gy’ensi,*
30 Nnali awo ku lusegere lwe ng’omukozi omukugu.+
Nze gwe yayagalanga ennyo;+Nnasanyukiranga mu maaso ge bulijjo;+
31 Nnasanyukira ensi ye ebeerekamu,Era okusingira ddala nnayagala nnyo abaana b’abantu.*
32 Kale baana bange, mumpulirize;Balina essanyu abo abatambulira mu makubo gange.
33 Muwulirize bye mbayigiriza+ mubenga n’amagezi,Temubivangako.
34 Alina essanyu oyo ampuliriza.
Akeera okujja* ku nzigi zange buli lunaku,N’alindira ku myango gy’enzigi zange;
35 Kubanga oyo anzuula ajja kufuna obulamu,+Era asiimibwa Yakuwa.
36 Naye oyo anneesamba yeerumya yekka;N’abo abankyawa baagala okufa.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abaana b’abantu.”
^ Obut., “enkulungo.”
^ Obut., “Bwe yanyweza.”
^ Oba, “Ereme kusukka kiragiro kye.”
^ Oba, “Bwe yalagira wabeewo emisingi gy’ennyanja.”
^ Oba, “olulyo lw’omuntu.”
^ Oba, “Asigala ng’atunula.”