Matayo 6:1-34

  • OKUBUULIRA OKW’OKU LUSOZI (1-34)

    • Weewale okwolesa obutuukirivu bwo (1-4)

    • Engeri y’okusabamu (5-15)

      • Essaala eyaweebwa ng’ekyokulabirako (9-13)

    • Okusiiba (16-18)

    • Eby’obugagga ku nsi ne mu ggulu (19-24)

    • Mulekere awo okweraliikirira (25-34)

      • Musooke munoonyenga Obwakabaka (33)

6  “Mwegendereze muleme kukolera bya butuukirivu mu maaso g’abantu olw’okwagala okubalaba;+ kubanga bwe mukola bwe mutyo, temujja kufuna mpeera okuva eri Kitammwe ow’omu ggulu.  N’olwekyo, bw’obangako by’owa abaavu, teweefuuyira kkondeere nga bannanfuusi bwe bakola mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, abantu basobole okubawa ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bamaze okugifuna mu bujjuvu.  Naye ggwe, bw’obangako by’owa abaavu, omukono gwo ogwa kkono gulemenga kumanya ogwa ddyo kye gukola,  ebintu by’owa abaavu bibeere bya kyama. Awo Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.+  “Era bwe muba musaba, temuba nga bannanfuusi;+ kubanga baagala okusaba nga bayimiridde mu makuŋŋaaniro ne mu masaŋŋanzira, abantu babalabe.+ Mazima ddala mbagamba nti empeera yaabwe bamaze okugifuna mu bujjuvu.  Naye ggwe bw’obanga oyagala okusaba, oyingiranga mu kisenge, era oluvannyuma lw’okuggalawo oluggi, osabe Kitaawo ali mu kyama.+ Kale Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera.  Naye bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga mu bigambo ng’ab’amawanga bwe bakola, kubanga balowooza nti bajja kuwulirwa olw’okwogera ebigambo ebingi.  Temukola nga bo, kubanga Kitammwe amanyi ebintu bye mwetaaga+ nga temunnaba na kubimusaba.  “Kale musabenga bwe muti:+ “‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo+ litukuzibwe.*+ 10  Obwakabaka bwo bujje.+ By’oyagala+ bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.+ 11  Tuwe emmere yaffe eya leero;+ 12  tusonyiwe amabanja gaffe nga naffe bwe tusonyiwa be tubanja.+ 13  Totutwala mu kukemebwa,+ naye tulokole* okuva eri omubi.’+ 14  “Bwe musonyiwa abantu ensobi zaabwe, ne Kitammwe ali mu ggulu ajja kubasonyiwa;+ 15  naye bwe mutabasonyiwa, ne Kitammwe ali mu ggulu tajja kubasonyiwa nsobi zammwe.+ 16  “Bwe muba musiiba,+ mulekere awo okuba abanyiikaavu nga bannanfuusi, kubanga bo tebafaayo ku ndabika yaabwe abantu basobole okubalaba nti basiiba.+ Mazima mbagamba nti empeera yaabwe bamaze okugifuna mu bujjuvu. 17  Naye ggwe bw’obanga osiiba, osiiganga amafuta mu mutwe gwo era n’onaaba mu maaso, 18  abantu baleme kukulaba nti osiiba okuggyako Kitaawo ali mu kyama; era Kitaawo alaba mu kyama alikuwa empeera. 19  “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi+ ebiwuka we bibiriira, obutalagge we bubyonoonera, era n’ababbi kwe babibbira. 20  Naye mweterekere eby’obugagga mu ggulu,+ ebiwuka gye bitayinza kubiriira wadde obutalagge okubyonoona,+ era n’ababbi gye batayinza kugenda ne babibba. 21  Kubanga eby’obugagga byo gye biba n’omutima gwo gye gubeera. 22  “Ettaala y’omubiri lye liiso.+ Eriiso lyo bwe liba nga litunula wamu, omubiri gwo gwonna guba mutangaavu;* 23  naye eriiso lyo bwe liba ery’obuggya,*+ omubiri gwo gwonna guba mu kizikiza. Ekitangaala ekiri mu ggwe bwe kibeera ekizikiza, ekizikiza ekyo nga kiba kya maanyi nnyo! 24  “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala,+ oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba byabugagga.+ 25  “N’olwekyo mbagamba nti: Mulekere awo okweraliikirira+ ebikwata ku bulamu bwammwe nti munaalya ki oba nti munaanywa ki, oba ebikwata ku mibiri gyammwe nti munaayambala ki.+ Obulamu tebusinga mmere n’eby’okwambala?+ 26  Mwetegereze ebinyonyi eby’omu bbanga.+ Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero; naye Kitammwe ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temuli ba muwendo nnyo okubisinga? 27  Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongerako wadde akatono* ku kiseera ky’obulamu bwe?+ 28  Era lwaki mweraliikirira eby’okwambala? Mubeeko kye muyigira ku ngeri amalanga ag’oku ttale gye gakulamu; tegakuluusana, wadde okuluka engoye; 29  naye mbagamba nti ne Sulemaani+ mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’erimu ku go. 30  Bwe kiba nti bw’atyo Katonda bw’ayambaza omuddo ogw’oku ttale, ogubeerawo leero ate enkya ne gusuulibwa mu kikoomi, taasinge kwambaza mmwe, mmwe abalina okukkiriza okutono? 31  N’olwekyo, temweraliikiriranga+ ne mugamba nti, ‘Tunaalya ki?’ oba nti, ‘Tunaanywa ki?’ oba nti, ‘Tunaayambala ki?’+ 32  Ebintu ebyo byonna amawanga bye geemaliddeko okunoonya. Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu ebyo byonna mubyetaaga. 33  “Kale musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebyo ebirala byonna biribongerwako.+ 34  N’olwekyo, temweraliikiriranga bya nkya,+ kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo. Buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “litwalibwe nga ttukuvu.”
Oba, “tununule.”
Oba, “gujjudde ekitangaala.”
Obut., “ebbi.”
Obut., “omukono.” Laba Ebyong. B14.