Okuva 1:1-22

  • Abayisirayiri beeyongera obungi mu Misiri (1-7)

  • Falaawo abonyaabonya Abayisirayiri (8-14)

  • Abakazi abazaalisa abatya Katonda bawonyaawo abaana abawere (15-22)

1  Yakobo, ng’ono ye Isirayiri, bwe yagenda e Misiri, batabani be nabo baagenda naye awamu n’ab’omu maka gaabwe.+ Gano ge mannya ga batabani be:  Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, ne Yuda;+  Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini;  Ddaani ne Nafutaali; Gaadi ne Aseri.+  Abo bonna abaazaalirwa Yakobo baali abantu 70, naye ye Yusufu yali yagenda dda e Misiri.+  Oluvannyuma Yusufu yafa+ ne baganda be bonna ne bafa era n’abantu ab’omulembe ogwo gwonna ne bafa.  Abayisirayiri* ne bazaala ne baba bangi nnyo, ne beeyongera obungi era ne baba ba maanyi ku kigero ekitaali kya bulijjo, ne bajjula mu nsi eyo.+  Oluvannyuma lw’ekiseera wajjawo kabaka omuggya mu Misiri eyali tamanyi Yusufu.  N’agamba abantu be nti: “Laba! Abantu ba Isirayiri batusinga obungi n’amaanyi.+ 10  Ka tubasalire amagezi. Bwe tutakola tutyo bajja kweyongera obungi, era singa wabalukawo olutalo, bajja kwegatta ku balabe baffe batulwanyise bave mu nsi yaffe.” 11  Awo ne babateekako bannampala abaabakozesanga emirimu egy’obuddu egy’amaanyi,+ ne bazimbira Falaawo ebibuga Pisomu ne Lamusesi+ ebyali eby’okuterekangamu ebintu. 12  Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya Abayisirayiri, Abayisirayiri gye baakoma okweyongera obungi n’okubuna ensi. Abamisiri ne batya nnyo olw’Abayisirayiri.+ 13  N’ekyavaamu, Abamisiri ne bakozesa Abayisirayiri emirimu egy’obuddu egy’amaanyi ennyo.+ 14  Ne bakalubya obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu egy’amaanyi egy’okusamba obudongo n’okukuba amatoffaali, era nga babakozesa buli mulimu ogw’amaanyi ogw’omu nnimiro. Bwe batyo, ne babakozesa nnyo mu mbeera enzibu era ne babakozesa buli mulimu ogw’obuddu.+ 15  Oluvannyuma kabaka wa Misiri yayogera n’abazaalisa Abebbulaniya, ng’omu erinnya lye ye Sifira ate ng’omulala ye Puwa, 16  n’abagamba nti: “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abebbulaniya+ ne mulaba ng’omwana wa bulenzi, mumuttanga; naye bw’abanga ow’obuwala, mumulekanga nga mulamu.” 17  Kyokka abazaalisa baatya Katonda ow’amazima ne batakola nga kabaka wa Misiri bwe yabalagira, naye ne baleka abaana ab’obulenzi nga balamu.+ 18  Oluvannyuma lw’ekiseera, kabaka wa Misiri yayita abazaalisa abo n’abagamba nti: “Lwaki muleka abaana ab’obulenzi nga balamu?” 19  Abazaalisa ne bagamba Falaawo nti: “Abakazi Abebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri. Bo ba maanyi. Omuzaalisa w’abatuukirako baba baamaze dda okuzaala.” 20  Katonda n’akolera abazaalisa abo ebirungi, era abantu ne beeyongera obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 21  Era olw’okuba abazaalisa baatya Katonda ow’amazima, oluvannyuma yabawa amaka. 22  Falaawo n’alagira abantu be bonna nti: “Buli mwana ow’obulenzi azaalibwa mumusuule mu Mugga Kiyira, naye buli mwana ow’obuwala mumuleke nga mulamu.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Abaana ba Isirayiri.”