Okuva 17:1-16

  • Okwemulugunya olw’okubulwa amazzi e Kolebu (1-4)

  • Amazzi gava mu lwazi (5-7)

  • Abamaleki balumba era bawangulwa (8-16)

17  Abayisirayiri bonna baava mu ddungu lya Sini+ ne bagenda nga batambula okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala, nga Yakuwa bwe yalagira.+ Baasiisira e Lefidimu,+ naye tewaaliyo mazzi ga kunywa.  Abantu ne batandika okuyombesa Musa+ nga bagamba nti: “Tuwe amazzi tunywe.” Naye Musa n’abagamba nti: “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugezesa Yakuwa?”+  Naye abantu ennyonta yali ebaluma nnyo, ne beemulugunya ku Musa+ nga bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri okutussa ennyonta, ffe n’abaana baffe n’ensolo zaffe?”  Musa n’akaabirira Yakuwa ng’agamba nti: “Abantu bano mbakolere ki? Banaatera okunkuba amayinja!”  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Kulemberamu abantu ng’oli wamu n’abakadde ba Isirayiri era ng’olina omuggo gwe wakuba ku Mugga Kiyira.+ Gukwate mu mukono gwo otambule.  Nja kuyimirira mu maaso go eyo ku lwazi, mu Kolebu. Ojja kukuba ku lwazi, era lujja kuvaamu amazzi abantu banywe.”+ Awo Musa n’akola bw’atyo ng’abakadde ba Isirayiri balaba.  Ekifo ekyo n’akituuma Masa*+ era Meriba*+ olw’okuyomba kw’Abayisirayiri era n’olw’okuba baagezesa Yakuwa+ nga bagamba nti: “Yakuwa ali wakati mu ffe oba nedda?”  Awo Abamaleki+ ne bagenda ne balwanyisa Isirayiri mu Lefidimu.+  Musa n’agamba Yoswa nti:+ “Tulondere abasajja ogende olwanyise Abamaleki. Enkya ŋŋenda kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda ow’amazima.” 10  Yoswa n’akola nga Musa bwe yamugamba,+ n’alwanyisa Abamaleki. Musa, Alooni, ne Kuli,+ ne bagenda ku ntikko y’olusozi. 11  Musa bwe yasigalanga ng’ayimusizza emikono gye waggulu, ng’Abayisirayiri bawangula, naye bwe yassanga wansi emikono gye, ng’Abamaleki bawangula. 12  Emikono gya Musa bwe gyatendewalirwa, ne baleeta ejjinja n’alituulako. Alooni ne Kuli ne bawanirira emikono gye, ng’omu ali ku luuyi olumu ate omulala ng’ali ku luuyi olulala, emikono gye ne gitava mu kifo okutuusa enjuba lwe yagwa. 13  Bw’atyo Yoswa n’awangula Amaleki n’abantu be, ng’akozesa ekitala.+ 14  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Kino kiwandiike mu kitabo kibeere ekijjukizo era okibuulire Yoswa, ‘Nja kusaanyizaawo ddala Abamaleki wansi w’eggulu+ era tebaliddamu kujjukirwa nate.’” 15  Awo Musa n’azimba ekyoto n’akituuma Yakuwa-nisi,* 16  ng’agamba nti: “Olw’okuba bawakanya obufuzi bwa Ya,+ Yakuwa anaalwananga ne Amaleki emirembe n’emirembe.”+

Obugambo Obuli Wansi

Litegeeza, “Okugezesa; Ekigezo.”
Litegeeza, “Okuyomba.”
Litegeeza, “Yakuwa kye kikondo kyange.”