Yobu 14:1-22

  • Yobu ayongera okwogera (1-22)

    • Obulamu bw’omuntu bumpi era bujjudde ebizibu (1)

    • “Bwe batema omuti wabaawo essuubi nti guliroka” (7)

    • “Kale singa onkwese emagombe!” (13)

    • “Omuntu bw’afa, asobola okuddamu okuba omulamu?” (14)

    • Katonda alyagala nnyo omulimu gw’engalo ze (15)

14  “Omuntu azaalibwa omukazi,Aba n’obulamu bumpi,+ era nga bujjudde ebizibu.*+   Ayanya ng’ekimuli ate n’awotoka;*+Adduka ng’ekisiikirize n’abulawo.+   Omutaddeko amaaso go,Era omuleeta awoze* naawe.+   Omuntu atali mulongoofu asobola okuzaala omulongoofu?+ Tekisoboka!   Bwe kiba nti ennaku ze zaagerekebwa,Omuwendo gw’emyezi gye guli naawe;Omuteereddewo ekkomo ly’atayinza kusukka.+   Muggyeeko amaaso go awummule,Okutuusa lw’anaamalako olunaku lwe ng’omukozi akolera empeera.+   Bwe batema omutiWabaawo essuubi nti guliroka,Era nti n’amatabi gaagwo galyeyongera okukula.   Emirandira gyagwo bwe gikaddiyira mu ttaka,Era n’ekikonge kyagwo ne kifiira mu ttaka,   Guloka nga gufunye otuzzi;Ne gussaako amatabi ng’ekimera ekiggya. 10  Naye omuntu afa n’aba nga takyalina ky’asobola kukola;Omuntu bw’afa, aba ali ludda wa?+ 11  Amazzi gaggwaamu mu nnyanja,N’omugga guggwaamu amazzi ne gukalira. 12  N’abantu bagalamira ne batayimuka.+ Ng’eggulu likyaliwo, tebalizuukukaEra tebalizuukusibwa mu tulo twabwe.+ 13  Kale singa onkwese emagombe,*+N’onkuumira eyo okutuusa obusungu bwo lwe bwandiyise,N’ongerera ekiseera n’onzijukira!+ 14  Omuntu bw’afa, asobola okuddamu okuba omulamu?+ Nja kulindirira mmaleko ennaku zange zonna ezingerekeddwa,Okutuusa lwe nditeebwa.+ 15  Olimpita, nange ndikuyitaba.+ Olyagala nnyo* omulimu gw’engalo zo. 16  Naye kaakano obala buli kigere kye ntambula;Ebibi byange byokka by’otunuulira. 17  Ebibi byange bisibiddwa mu nsawo,N’ensobi zange ozisibye ne ggaamu. 18  Ng’olusozi bwe lugwa ne lusaanawoEra ng’olwazi bwe luggibwa mu kifo kyalwo, 19  Era ng’amazzi bwe gaggweereza amayinja,Era ne gakuluggusa ettaka,Naawe bw’otyo bw’omazeewo essuubi omuntu ly’alina. 20  Omumala amaanyi okutuusa lw’asaanawo;+Okyusa endabika ye n’omugoba n’agenda. 21  Abaana be baweebwa ebitiibwa, n’atakimanya;Era bafeebezebwa, n’atakitegeera.+ 22  Obulumi abuwulira akyalina omubiri gwe,Era akungubaga akyali mulamu.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ennaku.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “n’atemebwa.”
Obut., “ondeeta mpoze.”
Laba Awanny.
Oba, “Oliyaayaanira.”