Yokaana 18:1-40

  • Yuda alyamu Yesu olukwe (1-9)

  • Peetero akozesa ekitala (10, 11)

  • Yesu atwalibwa ewa Anaasi (12-14)

  • Peetero yeegaana Yesu omulundi ogusooka (15-18)

  • Yesu mu maaso ga Anaasi (19-24)

  • Peetero yeegaana Yesu omulundi ogw’okubiri n’ogw’okusatu (25-27)

  • Yesu mu maaso ga Piraato (28-40)

    • “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno” (36)

18  Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n’agenda n’abayigirizwa be+ mu nnimiro eyali emitala w’Ekiwonvu Kidulooni.+  Yuda eyamulyamu olukwe naye yali amanyi ekifo ekyo, kubanga emirundi mingi Yesu yagendangayo n’abayigirizwa be.  Awo Yuda n’ajja n’ekibinja ky’abasirikale n’abakuumi okuva eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo nga bakutte emimuli, n’ettaala, n’eby’okulwanyisa.+  Yesu yali amanyi byonna ebyali bigenda okumutuukako, era yeesowolayo, n’abagamba nti: “Munoonya ani?”  Ne bamuddamu nti: “Yesu Omunnazaaleesi.”+ N’abagamba nti: “Ye nze.” Yuda eyamulyamu olukwe, naye yali ayimiridde wamu nabo.+  Kyokka bwe yabagamba nti: “Ye nze,” ne badda emabega ne bagwa wansi.+  N’addamu n’ababuuza nti: “Munoonya ani?” Ne bamugamba nti: “Yesu Omunnazaaleesi.”  Yesu n’abaddamu nti: “Mbagambye nti ye nze. Kale bwe muba munoonya nze, bano mubaleke bagende.”  Kino kyali bwe kityo okusobola okutuukiriza kye yagamba nti: “Abo be wampa sibuzizzaako n’omu.”+ 10  Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo n’atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n’amukutulako okutu okwa ddyo.+ Omuddu oyo yali ayitibwa Maluko. 11  Naye Yesu n’agamba Peetero nti: “Ekitala kizze mu kiraato kyakyo.+ Ekikopo Kitange ky’ampadde siikinywe?”+ 12  Awo abasirikale n’omuduumizi waabwe, n’abakuumi abaava eri Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba emikono. 13  Ne basooka ne bamutwala ewa Anaasi, kubanga ye yali taata wa mukyala wa Kayaafa,+ eyali kabona asinga obukulu omwaka ogwo.+ 14  Mu butuufu, Kayaafa ye yali agambye Abayudaaya nti kyandibadde kiganyula bo ng’omuntu omu afiiriridde abantu.+ 15  Awo Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu.+ Omuyigirizwa oyo yali amanyiddwa kabona asinga obukulu era yayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu. 16  Naye Peetero yayimirira wabweru ku mulyango. Awo omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n’agenda n’ayogera n’omukuumi w’oku mulyango, Peetero n’akkirizibwa okuyingira. 17  Awo omuzaana, eyali omukuumi w’oku mulyango, n’agamba Peetero nti: “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omusajja oyo?” N’amuddamu nti: “Siri omu ku bo.”+ 18  Abaddu n’abakuumi baali bayimiridde awo we baali bakumye omuliro nga boota, kubanga obudde bwali bunnyogovu. Peetero naye yali ayimiridde nabo ng’ayota omuliro. 19  Awo kabona omukulu n’abuuza Yesu ebikwata ku bayigirizwa be ne ku njigiriza ye. 20  Yesu n’amuddamu nti: “Mbaddenga njogera eri ensi mu lujjudde. Mbaddenga njigiriza mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu+ Abayudaaya bonna gye bakuŋŋaanira era sirina kye nnayogera mu kyama. 21  Lwaki ombuuza? Buuza abo abaawulira bye nnayogera. Abo bamanyi bye nnayogera.” 22  Yesu bwe yamala okwogera ebyo, omu ku bakuumi eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi ku ttama,+ n’amugamba nti: “Bw’otyo bw’oddamu kabona omukulu?” 23  Yesu n’amugamba nti: “Bwe mba nga nnina ekikyamu kye njogedde, kyogere; naye bwe mba nga njogedde kituufu, lwaki onkuba?” 24  Awo Anaasi n’amuweereza ng’asibiddwa emikono eri Kayaafa kabona asinga obukulu.+ 25  Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde awo ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti: “Naawe toli omu ku bayigirizwa be?” Ne yeegaana n’agamba nti: “Siri omu ku bo.”+ 26  Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu eyalina oluganda ku musajja Peetero gwe yali atemyeeko okutu+ n’amugamba nti: “Saakulabye ng’oli naye mu nnimiro?” 27  Kyokka Peetero n’addamu ne yeegaana, era amangu ago enkoko n’ekookolima.+ 28  Awo ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala ewa gavana+ era obudde bwali bwakakya. Naye bo tebaayingira munda baleme okufuuka abatali balongoofu,+ basobole okulya Okuyitako. 29  Piraato n’afuluma n’ajja gye bali n’abagamba nti: “Omusajja ono mumuvunaana ki?” 30  Ne bamuddamu nti: “Singa omusajja oyo tabadde mumenyi wa mateeka, tetwandimuleese gy’oli.” 31  Piraato n’abagamba nti: “Mmwe mumutwale mumusalire omusango ng’amateeka gammwe bwe galagira.”+ Abayudaaya ne bamugamba nti: “Amateeka tegatukkiriza kutta muntu yenna.”+ 32  Ekyo kyali bwe kityo okusobola okutuukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku ngeri gye yandifuddemu.+ 33  Awo Piraato n’addayo munda n’ayita Yesu n’amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”+ 34  Yesu n’amuddamu nti: “Ekyo okimbuuza ku bubwo oba abalala be bakubuulidde ebinkwatako?” 35  Piraato n’addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya? Abantu b’eggwanga lyo ne bakabona abakulu be bakuleese gye ndi. Wakoze ki?” 36  Yesu n’amuddamu nti:+ “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.+ Singa Obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, abantu bange bandirwanye ne siweebwayo eri Abayudaaya.+ Naye Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” 37  Awo Piraato n’amubuuza nti: “Kati olwo oli kabaka?” Yesu n’amuddamu nti: “Ggwe kennyini ggwe ogamba nti ndi kabaka.+ Kino kye nnazaalirwa era kino kye kyandeeta mu nsi: okuwa obujulirwa ku mazima.+ Buli ali ku ludda lw’amazima awulira eddoboozi lyange.” 38  Piraato n’amubuuza nti: “Amazima kye ki?” Bwe yamala okwogera ekyo, n’afuluma nate n’agenda eri Abayudaaya n’abagamba nti: “Siraba musango gw’azzizza.+ 39  N’ekirala, ku buli mbaga ey’Okuyitako, mubaako omuntu gwe munsaba okubateera.+ Kati mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?” 40  Awo ne baddamu okuleekaana nga bagamba nti: “Totuteera musajja oyo, wabula tuteere Balabba!” Balabba oyo yali mubbi.+

Obugambo Obuli Wansi