Zabbuli 112:1-10
112 Mutendereze Ya!*+
א [Alefu]
Alina essanyu omuntu atya Yakuwa,+ב [Besu]
Asanyukira ennyo ebiragiro bye.+
ג [Gimeri]
2 Bazzukulu be baliba ba maanyi mu nsi,ד [Dalesi]
Era omulembe gw’abagolokofu guliweebwa omukisa.+
ה [Ke]
3 Ebintu eby’omuwendo n’eby’obugagga biri mu nnyumba ye,ו [Wawu]
Era obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.
ז [Zayini]
4 Eri abagolokofu alinga ekitangaala ekyaka mu nzikiza.+
ת [Kesu]
Wa kisa, musaasizi,+ era mutuukirivu.
ט [Tesu]
5 Omuntu ow’ekisa era awola abalala afuna ebirungi.+
י [Yodi]
Ebintu bye abikola mu bwenkanya.
כ [Kafu]
6 Talisagaasagana.+
ל [Lamedi]
Omutuukirivu alijjukirwa emirembe n’emirembe.+
מ [Memu]
7 Taatyenga mawulire mabi.+
נ [Nuni]
Omutima gwe munywevu olw’okuba yeesiga Yakuwa.+
ס [Sameki]
8 Omutima gwe mugumu;* tatya,+ע [Ayini]
Era ku nkomerero aliraba okuwangulwa kw’abalabe be.+
פ [Pe]
9 Agabye nnyo;* awadde abaavu.+
צ [Sade]
Obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.+
ק [Kofu]
Amaanyi ge* galigulumizibwa mu kitiibwa.
ר [Lesu]
10 Omubi aliraba n’asunguwala.
ש [Sini]
Aliruma obugigi n’asaanawo.
ת [Tawu]
Okwegomba kw’omubi kulisaanawo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Oba, “mumalirivu.”
^ Oba, “Agabye bingi.”
^ Obut., “Ejjembe lye.”