Zabbuli 82:1-8

  • Okusaba wabeewo okusala omusango mu butuukirivu

    • ‘Katonda alamulira wakati mu bakatonda’ (1)

    • “Mulamulenga omunaku” (3)

    • “Muli bakatonda” (6)

Zabbuli ya Asafu.+ 82  Katonda ayimirira mu lukiiko lwe;+Alamulira wakati mu bakatonda,* n’agamba nti:+   “Mulituusa wa okusala emisango mu butali bwenkanya+N’okwekubiira ku ludda lw’ababi?+ (Seera)   Mulamulenga omunaku n’atalina kitaawe.+ Mubenga benkanya eri ateesobola era omwavu.+   Mununulenga omunaku n’omwavu;Mubalokolenga mu mukono gw’omubi.”   Abalamuzi tebamanyi era tebategeera;+Batambulira mu kizikiza;Emisingi gyonna egy’ensi gikankana.+   “Ŋŋambye nti, ‘Muli bakatonda,*+Mmwenna muli baana b’oyo Asingayo Okuba Waggulu.   Kyokka mulifa ng’abantu bwe bafa;+Ng’abaami abalala bwe basaanawo nammwe bwe mutyo bwe mulisaanawo!’”+   Yimuka Ai Katonda olamule ensi,+Kubanga amawanga gonna gago.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu abo abalinga bakatonda.”
Oba, “mulinga bakatonda.”