Ddala Abantu Balina Omwoyo Ogutafa?
Ddala Abantu Balina Omwoyo Ogutafa?
BW’OWULIRA ekigambo “omwoyo,” ki ekikujjira mu birowoozo? Abantu bangi balowooza nti ekigambo ekyo kitegeeza ekintu ekitalabika era ekitasobola kufa ekiri mu ffe. Balowooza nti omuntu bw’afa ekintu kino kimuvaamu ne kyeyongera okubeerawo nga kiramu. Okuva enzikiriza eyo bw’ebunye ennyo, bangi kibeewuunyisa oku
kimanya nti si njigiriza ya Baibuli. Kati olwo, okusinziira ku Kigambo kya Katonda, omwoyo kye ki?Abawandiisi ba Baibuli baakozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ruʹach oba eky’Oluyonaani pneuʹma nga bawandiika ebikwata ku “mwoyo.” Ebyawandiikibwa biraga amakulu g’ebigambo bino. Ng’ekyokulabirako, Yakobo 2:26 lugamba nti: ‘Omubiri awatali mwoyo [pneuʹma] guba mufu.’ N’olwekyo, mu nnyiriri zino, “omwoyo” gutegeeza ekyo ekisobozesa omubiri okuba omulamu. Awatali mwoyo, omubiri guba mufu. Mu Baibuli, ekigambo ruʹach tekivvuunulwa nga “mwoyo” kyokka, naye era nga ‘omukka ogw’obulamu’ oba amaanyi ag’obulamu. Ng’ekyokulabirako, ng’ayogera ku Mataba g’omu biseera bya Nuuwa, Katonda yagamba: “Ndireeta amataba ag’amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw’obulamu [ruʹach] wansi w’eggulu. (Olubereberye 6:17; 7:15, 22) N’olwekyo, “omwoyo” gutegeeza amaanyi agatalabika agasobozesa ebitonde byonna ebiramu okuba n’obulamu.
Omubiri gwetaaga omwoyo mu ngeri y’emu nga radiyo bwe yeetaaga amanda oba amasannyalaze, okusobola okwogera. Okusobola okukitegeera obulungi, lowooza ku ka radiyo akatono. Bw’oteeka amanda mu radiyo, oba bw’ogiyunga ku masannyalaze esobola okwogera. Kyokka, awatali manda, oba amasannyalaze radiyo tesobola kwogera. Mu ngeri y’emu, omwoyo ge maanyi agasobozesa emibiri gyaffe Zabbuli 104:29.
okubeera n’obulamu. Okufaananako amasannyalaze, omwoyo tegulina nneewulira era tegusobola kulowooza. Maanyi bwanyi. Kyokka, awatali mwoyo, oba amaanyi ag’obulamu, emibiri gyaffe ‘gifa era ne giddayo mu nfuufu,’ ng’omuwandiisi wa zabbuli bwe yagamba.—Nga lwogera ku kufa kw’omuntu, Omubuulizi 12:7 lugamba nti: “Enfuufu [y’omubiri gwe] n’edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.” Omwoyo, oba amaanyi g’obulamu bwe gava mu mubiri, omubiri gufa ne guddayo gye gwava—mu ttaka. Mu ngeri y’emu, amaanyi g’obulamu gaddayo gye gaava—ewa Katonda. (Yobu 34:14, 15; Zabbuli 36:9) Kyokka, kino tekitegeeza nti amaanyi g’obulamu gatambula ne gagenda mu ggulu. Wabula, kitegeeza nti omuntu afudde okusobola okuddamu okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso, kiba kyesigamye ku Yakuwa Katonda. Mu ngeri endala, obulamu bwe buba mu mikono gya Katonda. Katonda yekka y’asobola okuddamu okuwa omuntu omwoyo oba amaanyi ag’obulamu n’addamu okubeera omulamu.
Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti kino Katonda ky’ajja okukolera abo bonna abali mu “ntaana ezijjukirwa”! (Yokaana 5:28, 29, NW) Mu kiseera ky’okuzuukira, Yakuwa ajja kuddamu akolere abaafa emibiri emirala, era agiwe obulamu ng’agiteekamu omwoyo oba amaanyi g’obulamu. Ng’ekyo kiriba kiseera kya ssanyu nnyo!
Bw’oba nga wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri ekigambo “omwoyo” gye kikozesebwamu mu Baibuli,,” laba akatabo Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde? ku mpapula 12-14, n’akatabo Reasoning From the Scriptures, ku mpapula 380-84, bwombi bwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.