Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
Essuula ey’Omwenda
Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
Bintu ki Baibuli bye yalagula ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe?
Ekigambo kya Katonda kigamba nti abantu bandibadde beeyisa batya mu “nnaku ez’oluvannyuma”?
Ku bikwata ku “nnaku ez’oluvannyuma,” bintu ki ebirungi Baibuli bye yalagula ebyandibaddewo?
1. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya ebikwata ku biseera eby’omu maaso?
WALI olabye amawulire ku ttivi ne weebuuza nti, ‘Ensi eno eraga wa?’ Ebintu eby’entiisa bigwawo bugwi ne kiba nti abantu tebasobola kumanya kinaabaawo nkya. (Yakobo 4:14) Kyokka, Yakuwa amanyi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Isaaya 46:10) Ekigambo kye Baibuli kyalagula dda nnyo ku bintu ebibi ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe era n’ebirungi ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso.
2, 3. Kibuuzo ki abayigirizwa kye baabuuza Yesu, era yabaddamu atya?
2 Yesu Kristo yayogera ku Bwakabaka bwa Katonda, obujja okukomya obubi era bufuule ensi eno olusuku lwa Katonda. (Lukka 4:43) Abantu baayagala okumanya ekiseera Obwakabaka obwo lwe bwandizze. Mu butuufu, abayigirizwa ba Yesu baamubuuza nti: “Tubuulire bino we biribeererawo n’akabonero ak’okujja [“ak’okubeerawo,” NW] kwo n’ak’emirembe gino okuggwaawo?” (Matayo 24:3) Mu kubaddamu, Yesu yagamba nti Yakuwa Katonda yekka y’amanyi ekiseera kyennyini eky’enkomerero y’embeera zino ez’ebintu. (Matayo 24:36) Ate era, Yesu yabategeeza ebintu ebyandibaddewo ku nsi ng’Obwakabaka tebunnaleetera bantu mirembe n’obukuumi. Ebyo bye yalagula, weebiri kaakano!
3 Nga tetunnaba kwekenneenya bukakafu obulaga nti tuli mu ‘nnaku ez’amafundikira ng’embeera zino ez’ebintu,’ ka tusooke twekenneenye mu bimpimpi olutalo olwaliwo abantu lwe bataalaba. Olutalo olwo lwali mu ggulu, era ebyavaamu bitukwatako ffenna.
OLUTALO MU GGULU
4, 5. (a) Kiki ekyaliwo mu ggulu amangu ddala nga Yesu yaakafuulibwa Kabaka? (b) Okusinziira ku Okubikkulirwa 12:12, biki ebyandivudde mu lutalo olwaliwo mu ggulu?
4 Essuula evuddeko mu katabo kano eraze nti Yesu Kristo yatandika okufuga nga Kabaka mu ggulu mu 1914. (Danyeri 7:13, 14) Amangu ddala nga yaakafuuka Kabaka, alina kye yakolawo. Baibuli egamba: “Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri [erinnya lya Yesu eddala] ne bamalayika be nga batabaala okulwana n’ogusota [Setaani Omulyolyomi]; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo.” * Setaani ne bamalayika be ababi, oba badayimooni, baagobebwa mu ggulu era ne basuulibwa ku nsi. Bamalayika ba Katonda abeesigwa baasanyuka nnyo Setaani ne badayimooni bwe baagobebwa mu ggulu. Ku luuyi olulala, abantu bo tebandifunye ssanyu ng’eryo. Mu kifo ky’ekyo, Baibuli yalagula nti: “Zisanze ensi . . . kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”—Okubikkulirwa 12:7, 9, 12.
5 Weetegereze ebyandivudde mu lutalo olwo olwaliwo mu ggulu. Olw’obusungu obungi, Setaani yandireetedde abantu ebizibu eby’amaanyi. Nga bw’ojja okuyiga, kaakano tuli mu biseera ebizibu ennyo. Naye bijja kumala “akaseera katono.” Ne Setaani kennyini ekyo akimanyi. Akaseera ako Baibuli ekayita ‘ennaku ez’oluvannyuma.’ (2 Timoseewo ) Nga tuli basanyufu nnyo okukimanya nti mu kiseera ekitali kya wala Katonda ajja kuggyawo obubi bwonna Omulyolyomi bw’aleese ku nsi! Ka twekenneenye ebimu ku bintu ebyayogerwako mu Baibuli ebiriwo mu kiseera kino. Ebintu ebyo biraga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma era nti mangu ddala Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleeta emikisa egy’olubeerera eri abo abaagala Yakuwa. Okusooka, ka twekenneenye ebintu bina ebiri mu kabonero Yesu ke yagamba nti kandirambye ennaku ze tulimu. 3:1
EBINTU EBYANDIBADDEWO MU NNAKU EZ’OLUVANNYUMA
6, 7. Ebigambo bya Yesu ebikwata ku ntalo n’enjala bituukiriziddwa bitya leero?
6 “Eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka.” (Matayo 24:7) Abantu bukadde na bukadde battiddwa mu kyasa ekiyise. Munnabyafaayo omu Omungereza yagamba: “Ekyasa ekya 20 kye kikyasinze okubaamu okuyiwa omusaayi mu byafaayo byonna. . . . Kibadde kyasa omubadde entalo ezitatadde, era ng’ekiseera kibadde kitono nnyo lwe watabaddewo ntalo.” Alipoota okuva mu Worldwatch Institute (Ekitongole Ekyekenneenya Ebiriwo mu Nsi) egamba: “Abantu abakoseddwa entalo mu kyasa [ekya 20] bakubisaamu emirundi esatu abo abaakosebwa entalo zonna ezaaliwo okuva mu kyasa ekyasooka AD okutuuka mu mwaka gwa 1899.” Abantu abasukka mu bukadde 100 bafiiridde mu ntalo ezibaddewo okuva mu 1914. Wadde nga tumanyi obulumi obubaawo nga tufiiriddwa omwagalwa omu mu lutalo, tetuyinza kuteebereza nnyiike obukadde n’obukadde bw’abantu gye balina olw’okufiirwa abaagalwa baabwe mu ntalo.
7 “Walibaawo enjala.” (Matayo 24:7) Abanoonyereza bakizudde nti emmere yeeyongedde obungi mu myaka 30 egiyise. Wadde kiri kityo, enjala yeeyongedde olw’okuba abantu bangi tebalina ssente zimala okugula emmere oba ettaka kwe bayinza okulimira. Mu nsi ezikyakula, abantu abasukka mu kawumbi baavu lunkupe. Abasinga obungi ku bantu abo balumwa enjala ey’amaanyi. Ekitongole ky’Eby’Obulamu kiteebereza nti endya embi y’eviirako abaana abasukka mu bukadde obutaano okufa buli mwaka.
8, 9. Kiki ekiraga nti obunnabbi bwa Yesu obukwata ku musisi ne kawumpuli butuukiridde?
8 “Walibaawo n’ebikankano ebinene [musisi].” (Lukka 21:11) Ekitongole eky’omu Amerika ekyekenneenya enkula y’ensi (Geological Survey), kigamba nti musisi ow’amaanyi wa mirundi nga 19 asuubirwa buli mwaka era ng’asobola okwonoona ebizimbe n’okwasa ettaka. Okutwalira awamu, buli mwaka wabaddewo musisi asobola okusaanyaawo ebizimbe. Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti musisi asse abantu abasukka mu bukadde bubiri okuva 1900. Lipoota emu egamba nti: “Okukulaakulana mu bya tekinologiya kuyambye kitono nnyo mu kukendeeza ku muwendo gw’abantu abafa.”
9 “Walibaawo . . . kawumpuli.” (Lukka 21:11) Wadde nga wabaddewo okukulaakulana mu by’ekisawo, endwadde ezaaliwo edda n’ezizze mu biseera bino zikyeyongera okubonyaabonya abantu. Alipoota emu egamba nti endwadde za bika 20 ezimanyiddwa ennyo nga mu zino mwe muli akafuba, omusujja gw’ensiri, ne kolera—zeeyongedde obungi mu myaka egyakayita, era waliwo endwadde ezimu ezikyali enzibu okuvumulwa. Mu butuufu, endwadde empya nga 30 zibaluseewo. Ezimu teziriiko ddagala liyinza kuzivumula era nga zitta.
ABANTU B’OMU NNAKU EZ’OLUVANNYUMA
10. Nneeyisa ya ngeri ki eyalagulwako mu 2 Timoseewo 3:1-5 gy’olaba mu bantu leero?
10 Ng’oggyeko okwogera ku bintu ebyandibaddewo mu nsi, era Baibuli yalagula nti empisa z’abantu zandikyuse mu nnaku ez’oluvannyuma. Omutume Pawulo yannyonnyola engeri abantu gye bandibadde beeyisaamu. Tusoma bwe tuti mu 2 Timoseewo 3:1-5: “Mu nnaku ez’oluvannyuma, ebiro eby’okulaba ennaku birijja.” Mu bimpimpi, Pawulo yagamba nti abantu bandibadde
▪ beeyagala bokka
▪ baagala ebintu
▪ tebagondera bazadde
▪ tebaagala bulungi
▪ tebaagala ba luganda
▪ tebeegendereza
▪ bakambwe
▪ baagala essanyu okusinga Katonda
▪ nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo
11. Zabbuli 92:7 lulaga lutya ekyo ekinaatuuka ku babi?
11 Abantu beeyisa bwe batyo mu kitundu gy’obeera? Mazima ddala bwe kityo bwe kiri. Okwetooloola ensi waliwo abantu abeeyisa mu ngeri eyo. Kino kiraga nti Katonda anaatera okubaako ky’akolawo, kubanga Baibuli egamba: “Ababi ne bwe bameruka ng’omuddo, nga ne bye bakola bibagendera bulungi, naye ku nkomerero bazikirira.”—Zabbuli 92:7, Baibuli y’Oluganda eya 2003.
EBINTU EBIRUNGI EBYANDIBADDEWO!
12, 13. Mu ngeri ki “okumanya” gye kweyongedde mu ‘kiseera kino eky’enkomerero’?
12 Mazima ddala ennaku ez’oluvannyuma zijjudde ebizibu nga Baibuli
bwe yalagula. Kyokka, mu nsi eno ejjudde ebizibu, waliwo ebintu ebirungi mu basinza ba Yakuwa.13 Ekitabo kya Baibuli ekya Danyeri ky’alagula nti: “Okumanya kulyeyongera.” Okumanya okwo kwandyeyongedde ddi? Mu ‘kiseera eky’enkomerero.’ (Danyeri 12:4) Okusingira ddala, okuva mu 1914 Yakuwa ayambye abo abaagala okumuweereza okweyongera okumanya Baibuli. Basobodde okutegeera amazima agakwata ku linnya lya Katonda n’ebigendererwa bye, ssaddaaka ya Yesu Kristo, embeera y’abafu, n’okuzuukira. Ate era abasinza ba Yakuwa bayize okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri ebaganyula era ereetera Katonda okutenderezebwa. Era basobodde okutegeera obulungi ekigendererwa ky’Obwakabaka bwa Katonda n’engeri gye bunaatereezaamu ebintu ku nsi. Kiki kye bakozeewo bwe bafunye okumanya okwo? Ekibuuzo ekyo kitutuusa ku bunnabbi obulala obutuukirizibwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma.
14. Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gutuuse wa leero, era baani abagwenyigiddemu?
14 Mu bunnabbi bwe obukwata ku ‘mafundikira g’embeera zino ez’ebintu,’ Yesu Kristo yagamba: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna.” (Matayo 24:3, 14) Okwetooloola ensi, amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka, kwe kugamba, Obwakabaka obwo kye buli, kye bunaakola, n’engeri gye tuyinza okufunamu emikisa gyabwo—gabuulirwa mu nsi ezisukka mu 230 era mu nnimi ezisukka mu 400. Obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa babuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abajulirwa bano bava “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Okubikkulirwa 7:9) Abajulirwa bayigiriza obukadde n’obukadde bw’abantu Baibuli, nga kino bakikola ku bwereere. Ng’obunnabbi obwo butuukiriziddwa mu ngeri eyeewuunyisa naddala okuva Yesu bwe yagamba nti Abakristaayo ab’amazima ‘bandikyayiddwa’!—Lukka 21:17.
ONOOKOLA KI?
15. (a) Okkiriza nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, era lwaki oddamu bw’otyo? (b) “Enkomerero” bw’enejja, kiki ekinaatuuka ku abo abawakanya Yakuwa, n’abo abagondera obufuzi bw’Obwakabaka bwe?
15 Okuva bwe kiri nti obunnabbi bwa Baibuli bungi butuukirizibwa leero, tokikkiriza nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma? Amawulire amalungi bwe ganaamala okubuulirwa nga Yakuwa bw’ayagala, awo “enkomerero” ejja kujja. (Matayo 24:14) “Enkomerero” etegeeza ekiseera Katonda lw’ajja okuggyawo obubi ku nsi. Ajja kukozesa Yesu ne bamalayika ab’amaanyi okuzikiriza abo bonna abamuziyiza. (2 Abasessalonika 1:6-9) Setaani ne badayimooni be bajja kuba tebakyabuzaabuza bantu. Oluvannyuma, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa abo bonna abagondera obufuzi bwabwo okufuna emikisa.—Okubikkulirwa 20:1-3; 21:3-5.
16. Kiki eky’amagezi kye wandibadde okola?
16 Okuva enkomerero y’enteekateeka ya Setaani bw’esembedde, tusaanidde okwebuuza, ‘Nnandibadde nkola ki kati’? Ky’amagezi okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebyo by’atwetaagisa. (Yokaana 17:3) Nyiikira okwesomesa Baibuli. Gifuule mpisa yo obutayosa kukuŋŋaananga wamu nabo abaagala okukola Yakuwa by’ayagala. (Abebbulaniya 10:24, 25) Fuba okuyiga ebyo byonna Yakuwa Katonda by’ayigiriza abantu mu nsi yonna, era okole enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwo osobole okusiimibwa Katonda.—Yakobo 4:8.
17. Lwaki okuzikiriza kw’ababi kujja kujja ng’abantu bangi tebakusuubira?
17 Yesu yalagula nti abantu bangi tebandifuddeyo ku bujulizi obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Okuzikirizibwa kw’ababi kujja kubaawo nga tebakusuubira. Okufaananako omubbi ajja ekiro, kujja kutuuka ku bangi nga tebakwetegekedde. (1 Abasessalonika 5:2) Yesu yalabula: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja Matayo 24:37-39.
kw’Omwana w’omuntu. Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka amataba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.”—18. Kulabula ki Yesu kwe yawa kwe tusaanidde okugoberera?
18 N’olwekyo, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira [nga musiimibwa] mu maaso g’Omwana w’Omuntu.” (Lukka 21:34-36) Kiba kya magezi okugoberera okulabula kwa Yesu okwo. Lwaki? Kubanga abo abasiimibwa Yakuwa Katonda ‘n’Omwana w’omuntu,’ Yesu Kristo, balina essuubi ery’okuwonawo ng’enteekateeka ya Setaani ezikirizibwa era babeerewo emirembe gyonna mu nsi empya eneetera okutuuka!—Yokaana 3:16; 2 Peetero 3:13.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 4 Okumanya ebisingawo ebiraga nti Mikaeri lye linnya lya Yesu Kristo eddala, laba ebiri ku mpapula 218-19.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Entalo, enjala, musisi, ne kawumpuli biraga nti zino nnaku za nkomerero.—Matayo 24:7; Lukka 21:11.
▪ Mu nnaku ez’oluvannyuma, bangi beeyagala bokka, baagala bintu, n’eby’amasanyu naye tebaagala Katonda.—2 Timoseewo 3:1-5.
▪ Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwa mu nsi yonna.—Matayo 24:14.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 93]
“Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna.”—Matayo 24:14