ESSOMO 3
Ddala Amawulire Amalungi Gava eri Katonda?
1. Bayibuli yava wa?
Bayibuli erimu amawulire amalungi agalaga nti abantu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna. (Zabbuli 37:29) Bayibuli erimu ebitabo 66. Katonda yakozesa abasajja abeesigwa nga 40 okuwandiika ebitabo ebyo. Ebitabo ebitaano ebisooka Musa ye yabiwandiika emyaka nga 3,500 emabega. Ekitabo ekisembayo omutume Yokaana ye yakiwandiika emyaka egisukka mu 1,900 emabega. Abo abaawandiika Bayibuli bye baawandiika baabiggya wa? Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okwogera nabo. (2 Samwiri 23:2) Bye baawandiika byali bya Katonda so si byabwe. N’olwekyo Bayibuli yava eri Yakuwa.—Soma 2 Timoseewo 3:16; 2 Peetero 1:20, 21.
Laba vidiyo Ani Yawandiika Bayibuli?
2. Tukakasa tutya nti Bayibuli ntuufu?
Tukakasa nti Bayibuli yava eri Katonda kubanga byonna by’eyogera bituukirira era tewali muntu n’omu ayinza kukola ekyo. (Yoswa 23:14) Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ye yekka asobola okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.—Soma Isaaya 42:9; 46:10.
Twandisuubidde ekitabo ekyava eri Katonda okuba eky’enjawulo. Mazima ddala Bayibuli kitabo kya njawulo. Bayibuli buwumbi na buwumbi zikubiddwa mu nnimi nnyingi nnyo. Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, ekwatagana ne ssaayansi, era ebyo abasajja 40 bye baawandiika tebikontana. Ate era, Bayibuli etuyamba okutegeera okwagala kwa Katonda, era esobola okuyamba abantu okulongoosa obulamu bwabwe. Bino byonna bireetedde abantu bangi okukakasa nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.—Soma 1 Abassessalonika 2:13.
Laba vidiyo Tukakasa Tutya nti Bayibuli Ntuufu?
3. Bayibuli eyogera ku ki?
Ekimu ku bintu ebikulu Bayibuli by’eyogerako bye bintu ebirungi Katonda by’ajja okukolera abantu. Ebyawandiikibwa binnyonnyola engeri abantu gye baafiirwa enkizo ey’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi, era n’engeri olusuku olwo gye lujja okuzzibwawo.—Soma Okubikkulirwa 21:4, 5.
Ekigambo kya Katonda era kirimu amateeka, emisingi, n’okubuulirira. Bayibuli eyogera ne ku ngeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu mu biseera eby’edda, ekituyamba okutegeera ezimu ku ngeri ze. Bwe kityo, Bayibuli esobola okukuyamba okutegeera Katonda, era ennyonnyola engeri gy’oyinza okufuuka mukwano gwe.—Soma Zabbuli 19:7, 11; Yakobo 2:23; 4:8.
4. Oyinza otya okutegeera Bayibuli?
Akatabo kano kajja kukuyamba okutegeera Bayibuli nga kakozesa enkola Yesu gye yakozesanga. Yajulizanga ebyawandiikibwa era n’annyonnyola ‘amakulu gaabyo.’—Soma Lukka 24:27, 45.
Tewali kintu kisanyusa ng’amawulire amalungi agava eri Katonda. Naye abantu abamu tebagaagala, ate abalala gabanyiiza. Kyokka ekyo tekikumalaamu maanyi. Bw’oba oyagala okufuna obulamu obutaggwaawo weetaaga okumanya Katonda.—Soma Yokaana 17:3.