ESSOMO 16
Biki Yesu Bye Yakola ng’Ali ku Nsi?
Abantu bangi bamanyi ebikwata ku Yesu. Kyokka abamu bamanyi ebyo byokka ebyaliwo ng’akyali muwere, abalala bamumanyi nga nnabbi, ate abalala bamanyi ebyo byokka ebikwata ku kufa kwe. Naye waliwo ebirala ebikwata ku bulamu bwa Yesu ng’ali ku nsi bye tusobola okumanya? Mu ssomo lino, tugenda kulaba ebimu ku bintu ebikulu Yesu bye yakola n’engeri gye bikukwatako.
1. Mulimu ki omukulu Yesu gwe yakola ng’ali ku nsi?
Omulimu omukulu Yesu gwe yakola ng’ali ku nsi gwali gwa ‘kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.’ (Soma Lukka 4:43.) Yabuulira abantu nti Katonda ajja kussaawo Obwakabaka, kwe kugamba, gavumenti ejja okuggyawo ebizibu by’abantu byonna. a Yesu yamala emyaka esatu n’ekitundu ng’abuulira n’obunyiikivu amawulire ago amalungi.—Matayo 9:35.
2. Lwaki Yesu yakola ebyamagero?
Bayibuli eyogera ku ‘bikolwa eby’amaanyi, ebyamagero, n’obubonero bungi’ Katonda bye yakola okuyitira mu Yesu. (Ebikolwa 2:22) Yesu ng’akozesa amaanyi Katonda ge yamuwa, yasobola okukkakkanya omuyaga, okuliisa enkumi n’enkumi z’abantu, okuwonya abalwadde, n’okuzuukiza abafu. (Matayo 8:23-27; 14:15-21; Makko 6:56; Lukka 7:11-17) Ebyamagero Yesu bye yakola byalaga nti Katonda ye yali amutumye. Era byalaga nti Yakuwa asobola okuggyawo ebizibu byaffe byonna.
3. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe?
Yesu yagondera Yakuwa mu mbeera zonna. (Soma Yokaana 8:29.) Wadde nga yayigganyizibwa, Yesu yakola buli kimu Kitaawe kye yamugamba okukola era yali mwesigwa okutuukira ddala okufa. Yakiraga nti abantu basobola okuweereza Katonda, ne bwe baba nga boolekagana n’embeera enzibu. Bwe kityo, Yesu ‘yatuteerawo ekyokulabirako, tutambulirenga mu bigere bye.’—1 Peetero 2:21.
YIGA EBISINGAWO
Laba engeri Yesu gye yabuuliramu amawulire amalungi n’ebyamagero bye yakola.
4. Yesu yabuulira amawulire amalungi
Yesu yatambula eŋŋendo empanvu ng’ayita mu makubo omuli enfuufu, asobole okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Soma Lukka 8:1, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Yesu yalindanga bantu kugenda gy’ali alyoke ababuulire?
-
Kufuba ki Yesu kwe yateekamu okusobola okutuuka ku bantu?
Okuyitira mu bannabbi, Katonda yakiraga nti Masiya yandibuulidde amawulire amalungi. Soma Isaaya 61:1, 2, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Yesu yatuukiriza atya obunnabbi obwo?
-
Olowooza abantu leero beetaaga okuwulira amawulire ago amalungi?
5. Yesu yayigiriza abantu ebintu eby’omuganyulo
Ng’oggyeeko okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu yayigiriza abantu ebintu eby’omuganyulo. Weetegereze ebimu ku bintu ebyo bye yayigiriza ng’ali ku Lusozi. Soma Matayo 6:14, 34, ne 7:12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Magezi ki ag’omuganyulo Yesu ge yawa mu nnyiriri ezo?
-
Olowooza amagezi ago gakyali ga muganyulo ne leero?
6. Yesu yakola ebyamagero
Yakuwa yawa Yesu amaanyi n’asobola okukola ebyamagero bingi. Okusobola okumanya ekimu ku byamagero bye yakola, soma Makko 5:25-34 oba laba VIDIYO. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
-
Mu vidiyo eyo, omukazi eyali omulwadde yali mukakafu ku ki?
-
Kiki ekisinze okukukwatako mu kyamagero ekyo?
Soma Yokaana 5:36, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Ebyamagero Yesu bye yakola byakakasa ki?
Obadde okimanyi?
Ebintu ebisinga obungi bye tumanyi ku Yesu bisangibwa mu bitabo bya Bayibuli bina ebiyitibwa Enjiri. Ebitabo ebyo bye bino: Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana. Buli omu ku bawandiisi b’Enjiri alina ekintu eky’enjawulo kye yawandiika ku Yesu. Ebyo bye baawandiika bituyamba okufuna ekifaananyi ekijjuvu ku bulamu bwa Yesu.
-
MATAYO
ye yasooka okuwandiika. Mu Njiri ye ayogera ku ebyo Yesu bye yayigiriza, nnaddala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.
-
MAKKO
yawandiika ekitabo ekisingayo obutono mu bitabo by’Enjiri. Mu Njiri ye, ayogera ku bintu bingi ebibuguumiriza.
-
LUKKA
yawandiika bingi ebikwata ku kusaba ne ku ngeri Yesu gye yayisaamu abakazi.
-
YOKAANA
yawandiika bingi ebikwata ku ebyo Yesu bye yayogera ng’ali ne mikwano gye awamu n’abantu abalala, era ng’ekyo kituyamba okwongera okutegeera obulungi engeri za Yesu.
ABAMU BAGAMBA NTI: “Yesu yali bubeezi musajja mulungi.”
-
Ggwe olowooza otya?
MU BUFUNZE
Yesu yabuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, yakola ebyamagero, era yagondera Yakuwa mu buli kimu.
Okwejjukanya
-
Mulimu ki omukulu Yesu gwe yakola ng’ali ku nsi?
-
Ebyamagero Yesu bye yakola bikakasa ki?
-
Bintu ki eby’omuganyulo Yesu bye yayigiriza?
LABA EBISINGAWO
Kiki Yesu kye yasinga okwogerako?
Laba ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ddala Yesu yakola ebyamagero ebimwogerwako.
“Ebyamagero Yesu Bye Yakola Bituyigiriza Ki?” (Watchtower, Jjulaayi 15, 2004)
Laba engeri ekyokulabirako eky’okwefiiriza Yesu kye yassaawo gye kyakwata ku musajja omu.
“Nnali Nneerowoozaako Nnyo” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2014)
Laba ebintu ebikulu Yesu bye yakola mu buweereza bwe nga bwe byajja biddiriŋŋana.
“Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi” (Enkyusa ey’Ensi Empya, Ebyongerezeddwako A7)
a Tujja kuyiga ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu ssomo 31-33.