ESSUULA EY’ABIRI MU EMU
Yalwanyisa Okutya n’Okubuusabuusa
1-3. Biki Peetero bye yali alabye olunaku olwo, naye ekiro kyamugendera kitya?
PEETERO yakuba enkasi n’amaanyi ge gonna. Bwe yatunulako ebuvanjuba n’alaba ng’eggulu limyukiridde, yakimanya nti obudde bwali bunaatera okukya. Ebibegaabega n’omugongo byali bimufuuyirira olw’okukuba enkasi kumpi ekiro kyonna. Ennyanja y’e Ggaliraaya kwe baali yali esiikuuse olw’embuyaga ey’amaanyi eyali ekunta. Amayengo gaali gasuukunda eryato nga galizza eno n’eri. Nga yenna atotobadde, yeeyongera okukuba enkasi.
2 Peetero ne banne, Yesu baali bamulese ku lukalu. Ku lunaku olwo baali balabye Yesu ng’akola ekyamagero eky’okuliisa enkumi n’enkumi z’abantu emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri. Oluvannyuma lw’okulaba ekyamagero ekyo, abantu baagezaako okufuula Yesu kabaka, naye Yesu n’agaana okumuyingiza mu by’obufuzi. Abagoberezi be nabo yali tayagala beenyigire mu bya bufuzi. Yesu yeetakkuluza ku bantu abo, n’alagira abayigirizwa be bagende emitala w’ennyanja, ate ye n’agenda yekka ku lusozi okusaba.
3 Abayigirizwa ba Yesu we baayawukanira ne Yesu omwezi gwali waggulu ku ggulu, naye kati gwali gunaatera n’okubulirayo. Wadde nga baali bamaze ekiseera kiwanvu nga basaabala ku nnyanja, olugendo lwe baali baakatambulako lwali lutono nnyo ddala. Olw’okuba baali bakuba enkasi n’amaanyi mangi olw’embuyaga ey’amaanyi eyali esiikudde ennyanja, baali tebasobola na kunyumya. Peetero ateekwa okuba nga yali alowooza ku bintu bingi mu kiseera ekyo.
Peetero yali ayize ebintu bingi mu myaka ebiri gye yali yaakamala ne Yesu, naye era yali akyalina bingi eby’okuyiga
4. Lwaki tugamba nti Peetero yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo?
4 Waliwo ebintu bingi Peetero bye yali asobola okulowoozaako.
Waali waakayita emyaka ng’ebiri kasookedde atandika kutambula ne Yesu. Yali ayize ebintu bingi, naye era yali akyalina bingi bye yali yeetaaga okuyiga. Olw’okuba yali muntu eyali ayagala ennyo okuyiga era eyafuba ennyo okulwanyisa obunafu bwe yalina, gamba, ng’okutya n’okubuusabuusa, yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Ka tulabe ensonga lwaki tugamba bwe tutyo.“Tuzudde Masiya”!
5, 6. Obulamu bwa Peetero bwali butya?
5 Peetero yali tayinza kwerabira lunaku lwe yasooka okulaba Yesu. Muganda we, Andereya, ye yasooka okumubuulira ebifa ku Yesu. Yamugamba nti: “Tuzudde Masiya.” Okuva olwo obulamu bwe bwakyukira ddala.
6 Peetero yabeeranga Kaperunawumu, akabuga akaali ku lubalama olw’ebukiikakkono olw’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Ye ne Andereya muganda we ne Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebedaayo, baali bakolera wamu omulimu gw’okuvuba. Andereya ne nnyina wa mukyala we baali babeera mu maka ge. Okusobola okulabirira ab’omu maka ge, kyali kimwetaagisa okukola ennyo. Awatali kubuusabuusa ye ne banne baamalanga essaawa nnyingi ekiro ku nnyanja nga bavuba. Emisana baayawulangamu ebyennyanja bye baabanga bavubye era ne babitunda. Oluvannyuma baddaabirizanga obutimba bwabwe era ne babwoza.
7. Mawulire ki agakwata ku Yesu Peetero ge yafuna, era lwaki ago gaali mawulire malungi nnyo?
7 Bayibuli etutegeeza nti Andereya yali muyigirizwa wa Yokaana Omubatiza. Peetero ateekwa okuba nga yanyumirwanga nnyo okuwuliriza muganda we ng’amunyumiza ebyo Yokaana bye yayigirizanga. Lumu Andereya yalaba Yokaana ng’asonga ku Yesu era n’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda!” Amangu ago Andereya yafuuka omugoberezi wa Yesu, era n’ategeeza Peetero amawulire ag’essanyu nti: Masiya yali atuuse! (Yok. 1:35-40) Emyaka nga 4,000 emabega, nga Adamu ne Kaawa baakamala okwonoona, Yakuwa yali yasuubiza nti waaliwo eyali agenda okujja anunule abantu. (Lub. 3:15) Omununuzi oyo, Masiya, Andereya gwe yali alabye! Peetero yayanguwa n’agenda okulaba Yesu.
8. Erinnya Yesu lye yatuuma Peetero litegeeza ki, era lwaki abamu bagamba nti erinnya eryo lyali terimusaana?
8 Peetero yalinga ayitibwa Simooni, oba Simiyoni, naye bwe yajja eri Yesu, Yesu yamutunuulira n’amugamba nti: “‘Ggwe Simooni omwana wa Yokaana; ojja kuyitibwanga Keefa’ (erivvuunulwa nti, Peetero).” (Yok. 1:42) Erinnya “Keefa” litegeeza “ejjinja” oba “olwazi.” Awatali kubuusabuusa ebigambo bya Yesu bino byali bya bunnabbi. Yakiraba nti Peetero yandibadde ng’olwazi mu bagoberezi ba Kristo, kwe kugamba, nga munywevu era nga yeesigika. Peetero naye bw’atyo bwe yali yeeraba? Kirabika nedda. N’abamu mu kiseera kino bwe basoma ebikwata ku Peetero, tebamutwala ng’omuntu eyali yeesigika era omunywevu ng’olwazi. Abamu bagamba nti ebyo Bayibuli by’etubuulira ku Peetero biraga nti yali muntu akyukakyuka era atwalirizibwa amangu.
9. Kiki Yakuwa ne Yesu kye batunoonyamu, era lwaki tusaanidde okukikkiriza nti batulabamu ebirungi?
9 Kyo kituufu Peetero yalina obunafu obutali bumu, era ne Yesu yali abulaba. Naye okufaananako Yakuwa, Kitaawe, Yesu naye yanoonyanga ebirungi mu balala. Yesu yalaba engeri nnyingi ennungi mu Peetero, era n’afuba okumuyamba asobole okwongera okuzooleka. Naffe leero Yakuwa ne Yesu batunoonyaamu birungi. Kiyinza okutuzibuwalira okukikkiriza nti waliwo ebirungi bye batulabamu. Kyokka tusaanidde okukijjukira nti batulabamu ebirungi bingi, era okufaananako Peetero naffe tusaanidde okubeera abantu abaagala okuyigirizibwa era abeetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.
“Totya”
10. Bintu ki Peetero by’ayinza okuba nga yalaba Yesu ng’akola, naye ate yamuvaako n’addayo kukola ki?
10 Mu nnaku ezaddako, Yesu bwe yali ng’agenda abuulira mu bifo eby’enjawulo, kirabika Peetero yamuwerekerako. Bwe kityo nno, Peetero ayinza okuba nga yalaba Yesu ng’akola ekyamagero ekyasooka, bwe yafuula amazzi omwenge ku mbaga e Kaana. N’ekisinga obukulu, yawulira Yesu ng’ayogera ebigambo ebizzaamu amaanyi ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Wadde nga Peetero yawulira era n’alaba ebintu bingi Yesu bye yali akola, yalekera awo okutambula naye n’addayo ku mulimu gwe ogw’okuvuba. Naye oluvannyuma lw’emyezi mitono, Peetero yaddamu okusisinkana Yesu, era ku luno Yesu yamugamba amwegatteko bakolere wamu omulimu gw’okubuulira.
11, 12. (a) Peetero yali atawaanye kyenkana wa ekiro ekyali kiyise? (b) Bibuuzo ki Peetero by’ayinza okuba nga yeebuuza bwe yali ng’awuliriza Yesu?
11 Peetero yali ateganidde bwereere ekiro kyonna. Ye ne banne baali bateze obutimba bwabwe enfunda eziwerako naye nga babusikayo nga bwereere. Peetero ateekwa okuba nga yali akozesezza obukodyo bwonna bwe yali amanyi, era ng’agezezzaako okutega obutimba buli wamu we yali asuubira nti ebyennyanja we byali biriira. Era oboolyawo yatuuka ekiseera n’awulira ng’ajula okulingiza mu mazzi alabe ebyennyanja we biri era oboolyawo abiyingize lwa mpaka mu butimba. Tukijjukire nti yali tagenze ku nnyanja kwegayaazaamu, wabula ogwo gwe gwali omulimu ogumuyimirizaawo ye n’ab’omu maka ge. Yakomawo ku lubalama nga takwasizza kantu. Kyokka obutimba bwalina okwozebwa, era Yesu we yajjira ku lubalama lw’ennyanja Peetero yali mu kubwoza.
Peetero yanyumirwanga nnyo okuwuliriza Yesu ng’ayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda
13, 14. Kyamagero ki Yesu kye yakolera Peetero, era Peetero yawulira atya?
13 Yesu bwe yamala okuyigiriza, yagamba Peetero nti: “Eryato lyongereyo mu buziba, era musuule obutimba bwammwe muvube.” Naye Peetero yali abuusabuusa obanga baali basobola okukwasa ebyennyanja, era kyeyava agamba Yesu nti: “Omuyigiriza, twateganye ekiro kyonna naye ne tutakwasa kintu, naye olw’okuba ggwe oyogedde, nja kusuula obutimba.” Olw’okuba Peetero yali yaakamala okwoza obutimba, ayinza kuba nga yali tayagala kuddamu kubusuula mu nnyanja, naddala okuva bwe yali akimanyi nti emisana kizibu okukwasa ebyennyanja kubanga emisana biba tebinoonya kya kulya. Kyokka yakola nga Yesu bwe yamugamba n’ayongerayo eryato mu buziba, era kirabika n’awenya ne ku banne abaali mu lyato ery’okubiri babagoberere.
14 Peetero bwe yatuuka okusikayo obutimba mu nnyanja, yeewuunya okuwulira nti bwali buzitowa nnyo. Yeeyongera okusika n’amaanyi, era ekyo kye yalaba yali tayinza kukikkiriza; anti obutimba bwali bukubyeko ebyennyanja. Yayita banne abaali mu lyato eddala bajje babayambe. Bwe baatandika okusikayo obutimba baakiraba nti ebyennyanja ebyo byali tebisobola kugya mu lyato limu. Bajjuza amaato gombi, era gaali gabulako katono okubbira. Peetero yawuniikirira. Emabegako yali alabye Yesu ng’akola ebyamagero, naye ku luno ekyamagero yali akikoledde ye kennyini. Yeewuunya nnyo okulaba nti Yesu yali asobola okulagira ebyennyanja ne biyingira mu butimba. Yatya nnyo, era n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti: “Ndeka Mukama wange kubanga ndi muntu mwonoonyi.” Yawulira nti yali tasaana kubeera kumpi n’Oyo eyaliko amaanyi ga Katonda amangi bwe gatyo.
15. Yesu yayamba atya Peetero okukitegeera nti yali tasaanidde kutya wadde okubuusabuusa?
Luk. 5:10, 11) Peetero yali tasaanidde kutya wadde okubuusabuusa. Okubuusabuusa kwe yalina oboolyawo ku ngeri gye yali ajja okweyimirizaawo kwali kwa bwereere, era yali tasaanidde kwenyooma oba kwetya olw’obunafu bwe yalina. Omulimu Yesu gwe yali amuyita okukola gwali mukulu nnyo, kubanga gwali gukwata ku biseera by’abantu eby’omu maaso. Yali aweereza Katonda ‘asonyiwa ennyo.’ (Is. 55:7) Yakuwa yali ajja kusobola okulabirira Peetero mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.
16. Peetero, Yakobo, ne Yokaana baakola ki Yesu bwe yabayita bamugoberere, era lwaki ekyo kye baakola kyali kya magezi nnyo?
16 Mangu ddala, Peetero yasalawo okwegatta ku Yesu mu mulimu Luk. 5:11) Mu kukola ekyo, Peetero yakyoleka nti yali atadde obwesige bwe mu Yesu ne mu Oyo eyatuma Yesu. Ekyo kye yasalawo okukola kyali kya magezi nnyo. Ne leero Abakristaayo ab’amazima beewaayo okuweereza Katonda, nga tebalinaamu kutya kwonna wadde okubuusabuusa. Mu kukola bwe batyo, nabo baba bakyoleka nti batadde obwesige bwabwe mu Yakuwa Katonda. Era Yakuwa tasobola kwabulira abo abamwesiga.
“Lwaki Obuusabuusizza?”
17. Biki Peetero bye yali alabye mu myaka ebiri gye yali yaakamala ne Yesu?
17 Kati nga wayise emyaka ng’ebiri bukya asisinkana Yesu, Peetero yali mu lyato ku nnyanja y’e Ggaliraaya eyali esiikuuse nga bwe kiragiddwa mu katundu akasooka. Tetuyinza kumanya biki bye yali alowooza mu kiseera ekyo. Waliwo ebintu bingi bye yali ayinza okulowoozaako. Ng’ekyokulabirako, yali alabye Yesu ng’awonya nnyina wa mukyala we obulwadde, era yali amuwulidde ng’ayigiriza ku lusozi. Engeri Yesu gye yali ayigirizaamu n’ebyamagero bye yali akola, byali bikyoleka bulungi nti ye yali Masiya, Yakuwa gwe yalonda. Mpolampola Peetero yali agenze avvuunuka ekizibu ky’okubuusabuusa n’okutya. Yesu yali amulonze n’okuba omu ku batume be 12. Naye waliwo ebyaliwo oluvannyuma ebyalaga nti Peetero yali tannaggweramu ddala kutya na kubuusabuusa.
18, 19. (a) Kiki Peetero kye yalaba ku Nnyanja y’e Ggaliraaya? (b) Kiki Yesu kye yasobozesa Peetero okukola?
18 Awo mu kisisimuka eky’okuna, ekyabangawo wakati w’essaawa nga 9 ez’ekiro ne 12 ez’oku makya, Peetero yalaba ekintu ekitambula ku mazzi. Yalekera awo okukuba enkasi n’atuula busimba. Kiki kye yalaba? Lyali jjengo? Nedda, kino kyali kijja kitambula busimba. Yali muntu ng’atambulira ku mazzi! Omuntu oyo bwe yasembera, yalabika ng’eyali agenda okubayitako. Baatya nnyo nga balowooza nti oyo gwe baali balaba teyali muntu yennyini. Kyokka omuntu oyo yali Yesu era yabagamba nti: “Mugume, ye nze, temutya.”
19 Peetero yamuddamu nti: “Mukama waffe, bw’oba nga ye ggwe ndagira ntambulire ku mazzi nzije gy’oli.” Wano Peetero yayoleka obuvumu. Yabuguumirira olw’okulaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, era naye yayagala Yesu amusobozese okutambulira ku mazzi, kyongere okunyweza okukkiriza kwe. Yesu yamuyita agende we yali. Peetero yava mu lyato n’alinnya mu mazzi. Lowoozaamu bwe yawulira ng’ayimiridde ku mazzi era ng’atandise n’okugatambulirako okugenda awaali Yesu! Kiteekwa okuba nga kyamwewuunyisa nnyo. Kyokka bwe yali atambula, alina enneewulira endala eyamujjira amangu ago.
20. (a) Kiki ekyawugula Peetero, era biki ebyavaamu? (b) Bigambo ki Yesu bye yagamba Peetero ebyalimu eky’okuyiga ekikulu ennyo?
20 Peetero teyalina kuggya birowoozo bye ku Yesu. Yesu ye yali amusobozesa okutambulira ku mazzi ng’akozesa amaanyi ga Yakuwa, era ng’ekyo Yesu yali akikola olw’okuba Peetero yali amukkiririzzaamu. Kyokka waliwo ekyawugula Peetero. Bayibuli egamba nti: “Bwe yatunuulira omuyaga n’atya.” Peetero yatunuulira amayengo amanene agaali ku nnyanja olw’embuyaga eyali ekunta ennyo, n’atya. Oboolyawo yalowooza nti yali agenda kubbira. Okutya kwa Peetero bwe kweyongera, okukkiriza kwe ne kukendeera. Omusajja Yesu gwe yali atuumye Olwazi olw’okuba yali amulabye ng’ajja kuba munywevu ddala, yatandika okubbira olw’okuba n’okukkiriza okutono. Peetero yali amanyi bulungi okuwuga, naye mu kaseera ako n’eky’okuwuga teyakirowoozanako. Yawanjagira Yesu n’amugamba nti: “Mukama waffe, Mponya!” Yesu yamukwata omukono n’amusika mu mazzi, era awo nga bombi bayimiridde ku mazzi, Yesu yagamba Peetero ebigambo bino ebyalimu eky’okuyiga ekikulu nnyo. Yamugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusabuusizza?”21. Lwaki okubuusabuusa kwa kabi nnyo, era tuyinza tutya okukulwanyisa?
21 Okubuusabuusa kintu kya mutawaana nnyo. Bwe tuba n’okubuusabuusa okukkiriza kwaffe kugenda kukendeera mpolaampola, era ne kituviiramu okuddirira mu by’omwoyo. Okubuusabuusa bwe kuba kuzze tulina okufuba ennyo okukulwanyisa! Tutya? Nga tulowooza ku bintu ebizimba. Bwe tulowooza ennyo ku bintu ebitutiisa, ebitumalamu amaanyi, oba ebyo ebituwugula okutuggya ku Yakuwa n’Omwana we, okubuusabuusa kwe tuba nakwo kweyongera bweyongezi. Naye bwe tulowooza ku Yakuwa n’Omwana we, era ne ku ebyo bye batukoledde, bye batukolera kati, ne bye bagenda okutukolera mu biseera eby’omu maaso, okubuusabuusa kwonna kwe tuba nakwo kuggwawo.
22. Lwaki tusaanidde okwoleka okukkiriza okulinga okwa Peetero?
22 Peetero yatambula okuddayo mu lyato ng’avaako Yesu emabega, era omuyaga gwakkakkana. Awo ye ne banne ne bagamba Yesu nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.” (Mat. 14:33) Peetero ateekwa okuba nga yali musanyufu nnyo. Okubuusabuusa n’okutya byali bimuweddemu. Kyo kituufu yali akyalina eby’okukolako bingi okusobola okufuuka Omukristaayo omunywevu era omugumu ng’olwazi, naye yali mumalirivu obutakkiriza kintu kyonna kumulemesa. Naawe oli mumalirivu bw’otyo? Mazima ddala Peetero yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo!