ESSOMO 6
Okubeerako Awamu ne Bakristaayo Bannaffe Kituganyula Kitya?
Ne bwe kiba nga kitwetaagisa kuyita mu kibira, era embeera y’obudde ne bw’eba mbi etya, tetwosa kugenda mu nkuŋŋaana. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukuŋŋaana ne bannaabwe wadde nga baba n’ebizibu, era wadde ng’oluusi baba bakooye?
Tuyambagana. Ng’ayogera ku ekyo kye tulina okukola nga tukuŋŋaanye n’abalala, omutume Pawulo yagamba nti: “Buli omu ku ffe alowoozenga ku munne.” (Abebbulaniya 10:24) Ebigambo by’omutume Pawulo ebyo biraga nti tulina okufuba okumanya bannaffe, era bitukubiriza okufaayo ku balala. Bwe twogerako ne Bakristaayo bannaffe, tuyinza okukizuula nti abamu basobodde okuvvuunuka ebizibu ebifaananako ebyo bye tulina, era nti basobola okutuyamba okubivvuunuka.
Enkolagana yaffe n’abalala yeeyongera okunywera. Abo be tuba nabo mu nkuŋŋaana tebalinga bantu be tulabako obulabi obw’olumu; abantu abo mikwano gyaffe egya nnamaddala. Oluusi n’oluusi tufuna ebiseera ne twesanyusaamu nga tuli wamu nabo. Ekyo kivaamu miganyulo ki? Tumanya engeri za baganda baffe ennungi era ekyo kituleetera okweyongera okubaagala. Baganda baffe abo bwe bafuna ebizibu, tubayamba awatali kulonzalonza kwonna olw’okuba tubaagala nnyo. (Engero 17:17) Bwe tutabaako n’omu gwe tuboola mu kibiina kiba kiraga nti ‘tufaayo ku bannaffe.’—1 Abakkolinso 12:25, 26.
Tukukubiriza okole omukwano n’abo abakola Katonda by’ayagala. Emikwano ng’egyo emirungi ojja kugifuna mu Bajulirwa ba Yakuwa. Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kukola mukwano na bantu ba Yakuwa.
-
Okunyumyako n’abalala nga tuzze mu nkuŋŋaana kituganyula kitya?
-
Ddi lwe wandyagadde okujja mu nkuŋŋaana osobole okumanya ab’oluganda abali mu kibiina kyaffe?