Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI KY’EGAMBA

Okukuba Zzaala

Okukuba Zzaala

Abantu abamu balowooza nti okukuba zzaala tekiriimu buzibu bwonna, ate abalala balowooza nti okukuba zzaala kintu kya mutawaana.

Waliwo obuzibu bwonna mu kukuba zzaala?

ABANTU KYE BAGAMBA

Abantu bangi balowooza nti okukuba zzaala tekiriimu buzibu bwonna, ka sita kiba nti zzaala oyo aba akkirizibwa mu mateeka. Ebika ebimu ebya zzaala ebikkirizibwa mu mateeka, gamba ng’ebibiina bya lotale ebivujjirirwa gavumenti, bivaamu ssente eziyamba abantu.

BAYIBULI KY’EGAMBA

Bayibuli teyogera butereevu ku kukuba zzaala. Kyokka, erimu emisingi egituyamba okumanya endowooza Katonda gy’alina ku kukuba zzaala.

Okukuba zzaala kizingiramu okuwangula ssente abalala ze baba bafiiriddwa, era nga kino kikontana n’ekyo Bayibuli ky’etugamba. Bayibuli egamba nti: ‘Mwekuume omululu ogwa buli ngeri.’ (Lukka 12:15, obugambo obuli wansi) Mu butuufu, omululu gwe guleetera omuntu okukuba zzaala. Bannannyini kampuni za zzaala bwe baba bakuba obulango, tebakiraga nti emikisa gy’okuwangula giba mitono nnyo, kubanga bakimanyi nti abantu, olw’okwagala okugaggawala amangu, bassa ssente nnyingi nnyo mu kukuba zzaala. Mu kifo ky’okuyamba abantu okwewala omululu, okukuba zzaala kubaleetera okwagala okufuna ssente ez’amangu.

Omuntu akuba zzaala aba yeerowoozaako yekka, kubanga aba ayagala kufuna ssente abalala ze baba bafiiriddwa. Kyokka Bayibuli egamba nti buli muntu “alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye anoonye ebigasa abalala.” (1 Abakkolinso 10:24) Ate era erimu ku Mateeka Ekkumi ligamba nti: “Teweegombanga . . . ekintu kyonna eky’omuntu omulala.” (Okuva 20:17) Omuntu akuba zzaala bw’amalira ebirowoozo bye ku kuwangula, mu ngeri endala aba asuubira abalala okufiirwa ssente ye asobole okufuna.

Bayibuli etukubiriza obutakkiririza mu lukisakisa. Mu Isirayiri ey’edda, waaliwo abantu abaali bateesiga Katonda, era abaatandika ‘okutegekera katonda Mukisa emmeeza.’ Ekyo kyali kikkirizibwa mu maaso ga Katonda? Nedda. Yabagamba nti: “Mwakolanga ebintu ebibi mu maaso gange, era mwalondawo ebitansanyusa.”​—Isaaya 65:11, 12.

Kyo kituufu nti mu nsi ezimu, ssente eziva mu kukuba zzaala zikozesebwa mu kusasulira ebisale by’amasomero, okutumbula eby’enkulaakulana, n’ebintu ebirala ebiyamba abantu. Naye okuba nti ssente ezo ziba za mugaso, tekikyusa ngeri gye zaafunibwamu; ziba zaafunibwa mu ngeri ereetera abantu okuba ab’omululu, okwefaako bokka, n’okwagala okufuna eby’obwereere.

“Teweegombanga . . . ekintu kyonna eky’omuntu omulala.”​—Okuva 20:17.

Bizibu ki ebiyinza okuva mu kukuba zzaala?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Bayibuli egamba nti: “Abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego era batwalirizibwa okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okuviirako abantu okuzikiririra ddala.” (1 Timoseewo 6:9) Omululu gwe guleetera omuntu okukuba zzaala, ate ‘ng’omululu’ kye kimu ku bintu Bayibuli by’etugamba okwewala.​—Abeefeso 5:3.

Okuva bwe kiri nti ekigendererwa ekikulu eky’abantu abakuba zzaala kwe kugaggawala awatali kukakaalukana, ekyo kibaviirako okwagala ennyo ssente, ate nga Bayibuli egamba nti okwagala ennyo ssente “ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri.” Okwagala ennyo ssente kisobola okuleetera omuntu okutandika okweraliikirira ennyo, era kisobola n’okwonoona enkolagana ye ne Katonda. Bayibuli egamba nti abo abagwa mu katego k’okwagala ennyo ssente “beereetera obulumi bungi.”​—1 Timoseewo 6:10.

Omululu guleetera omuntu obutaba mumativu, era ekyo kimumalako essanyu. Bayibuli egamba nti: “Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kumatira ssente, n’omuntu ayagala ennyo eby’obugagga tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.”​—Omubuulizi 5:10.

Abantu bangi abakuba zzaala beesanga ng’okukuba zzaala gubafuukidde omuze. Ekizibu kino kiri mu bitundu bingi eby’ensi, era kiteeberezebwa nti mu Amerika yokka, abantu bukadde na bukadde okukuba zzaala gwabafuukira omuze.

Olugero olumu lugamba nti: “Obusika obufunibwa mu kululunkana tebuba na mukisa ku nkomerero.” (Engero 20:21) Omuze gw’okukuba zzaala guviiriddeko abantu bangi okugwa mu mabanja, okuggweebwako ssente, okufiirwa emirimu, obufumbo bwabwe okusasika, n’okufiirwa emikwano. Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kiyamba omuntu okwewala ebizibu ebiva mu kukuba zzaala, era kimuyamba okuba omusanyufu.

“Abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego era batwalirizibwa okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okuviirako abantu okuzikiririra ddala.”​—1 Timoseewo 6:9.