Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 3 2021 | Oyinza Otya Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi? Akatabo kano kalaga ebintu abantu abamu bye bakola bye balowooza nti binaabayamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Era kajja kukuyamba okulaba engeri yokka gy’osobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

 

Buli Omu Ayagala Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi

Ekizibu bwe kigwawo ne kiteeka obulamu bw’abantu mu kabi, wa w’oyinza okuggya obulagirizi obwesigika?

Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Byesigamye ku Ki?

Abo abalaguzisa emmunyeenye, abasinza abantu baabwe abaafa, era n’abakkiriza nti omuntu bw’afa abbulukukira mu bulamu obulala, balowooza nti ebiseera byabwe eby’omu maaso byesigamye ku maanyi agatalabika.

Obuyigirize Obwa Waggulu ne Ssente Binaakuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Bangi bakizudde nti obuyigirize ne ssente tebibayambye kufuna ebyo bye baali basuubira.

Okweyisa Obulungi Kye Kisobozesa Omuntu Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Kirungi okweyisa obulungi, naye si kye kyokka ekyetaagisa okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

Kiki Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?

Bwe tuba tulina kye twagala okusalawo, tutera okwebuuza ku muntu atusinga obukulu n’obumanyirivu. Mu ngeri y’emu, tusobola okufuna amagezi ageesigika agasobola okutuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

Ekiyinza Okutuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi

Olowooza kiki ekisobola okukuyamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?