Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI​—YAWONA OKUSAANAWO

Ebikwata ku Bayibuli by’Osaanidde Okumanya

Ebikwata ku Bayibuli by’Osaanidde Okumanya

Bayibuli ya njawulo nnyo ku bitabo ebirala eby’eddiini. Tewali kitabo kirala abantu kye bamaze ebbanga eddene ennyo nga bakkiririzaamu okusinga Bayibuli. Ku luuyi olulala, tewali kitabo bantu kye bawakanyizza kusinga Bayibuli.

Ng’ekyokulabirako, abeekenneenya abamu babuusabuusa obanga Bayibuli ze tulina kati zirimu ebyo byennyini ebyali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasookera ddala. Profesa omu ow’eby’eddiini yagamba nti: “Tetuli bakakafu obanga tusobodde okuzzaawo ebyawandiikibwa nga bwe byali mu kusooka. Ebiwandiiko bye tulina birimu ensobi nnyingi, era ebisinga obungi ku byo byakoppololwa luvannyuma nnyo era bya njawulo nnyo ku byasooka.”

Abamu babuusabuusa ebyo ebiri mu Bayibuli olw’ebyo bye baayigirizibwa okuva mu buto. Ng’ekyokulabirako, Faizal yagambibwa ab’ewaabwe abataali Bakristaayo nti Bayibuli kitabo kitukuvu naye abantu baagikyusa. Faizal agamba nti: “N’olw’ensonga eyo, saayagalanga bantu kumbuulira bikwata ku Bayibuli, era nnalowoozanga nti si ntuufu kubanga nnagambibwa nti abantu baagikyusa!”

Naye kikulu okumanya obanga abantu baakyusa Bayibuli oba tebaagikyusa? Lowooza ku bibuuzo bino: Oyinza okwesiga ebisuubizo ebiri mu Bayibuli bw’oba tokakasa nti ebisuubizo ebyo byali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasookera ddala? (Abaruumi 15:4) Osobola okukolera ku magezi agali mu Bayibuli okusalawo ku nsonga enkulu mu bulamu gamba nga ku bikwata ku kwesanyusaamu, ku maka, oba ku by’okusinza, bwe kiba nti Bayibuli eziriwo leero si ntuufu?

Wadde ng’ebitabo bya Bayibuli ebyasookera ddala okuwandiikibwa tebikyaliwo, ebitabo ebyo byakoppololwa era kopi z’ebitabo ebyo ez’edda ennyo zikyaliwo. Kyasoboka kitya ebiwandiiko bya Bayibuli ebyo obutavunda n’obutasaanyizibwawo, era kyasoboka kitya abantu obutakyusa bubaka obubirimu? Okuba nti ebiwandiiko ebyo bikyaliwo kiyinza kitya okukuyamba okukakasa nti Bayibuli eziriwo kati ntuufu? Soma ebitundu ebiddako ofune eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.