Ba n’Okukkiriza okw’Amaanyi mu Bwakabaka
“Okukkiriza kwe kulindirira n’obwesige ebintu ebisuubirwa.”—BEB. 11:1.
1, 2. Kiki ekinaatuyamba okuba abakakafu nti okuyitira Bwakabaka, ekigendererwa kya Katonda kijja kutuukirira, era lwaki? (Laba ekifaananyi waggulu.)
ABAJULIRWA ba Yakuwa tukkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu byonna abantu bye balina, era ekyo tufuba okukibuulirako abalala. Bwe tulowooza ku bintu ebirungi Obwakabaka obwo bye bujja okukola kituleetera essanyu lingi. Naye ddala tuli bakakafu nti okuyitira mu Bwakabaka, Katonda ajja kutuukiriza ekigendererwa kye? Lwaki tusaanidde okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Bwakabaka?—Beb. 11:1.
2 Omuyinza w’ebintu byonna ye yassaawo Obwakabaka bwa Masiya era okuyitira mu bwo ajja kutuukiriza ekigendererwa kye. Obwakabaka obwo buli ku musingi omunywevu ddala, olw’okuba Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Kabaka w’Obwakabaka obwo, abo b’anaafuga nabo, n’ettwale ly’Obwakabaka obwo, byonna bikakasiddwa okuyitira mu ndagaano ezaakolebwa Katonda oba Omwana we Yesu Kristo. Okwetegereza ebikwata ku ndagaano ezo kijja kutuyamba okwongera okutegeera engeri ekigendererwa kya Katonda gye kijja okutuukirizibwamu era kijja kunyweza okukkiriza kwaffe mu Bwakabaka bwe.—Soma Abeefeso 2:12.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekinnaddako?
3 Bayibuli eyogera ku ndagaano enkulu mukaaga ezirina akakwate n’Obwakabaka bwa Masiya. Endagaano ezo ze zino: (1) endagaano ya Ibulayimu, (2) endagaano y’Amateeka, (3) endagaano ya Dawudi, (4) endagaano ya kabona alinga Merukizeddeeki, (5) endagaano empya, ne (6) endagaano y’Obwakabaka. Kati ka tulabe engeri buli emu ku ndagaano ezo gy’ekwatagana n’Obwakabaka awamu n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu.—Laba ekipande “Engeri Katonda gy’Anaatuukirizaamu Ekigendererwa Kye.”
EKISUUBIZO EKIRAGA ENGERI EKIGENDERERWA KYA KATONDA GYE KINAATUUKIRIZIBWAMU
4. Nga bwe kiragibwa mu kitabo ky’Olubereberye, bintu ki ebisatu ebikwata ku bantu Yakuwa bye yayogera?
4 Oluvannyuma lw’okutonda ensi erabika obulungi, Yakuwa yayogera ebintu bisatu ebikwata ku bantu: Yali wa kutonda abantu mu kifaananyi kye, abantu baali ba kugaziya Olusuku lwa Katonda lubune ensi yonna era lujjule abantu abatuukirivu, era abantu tebaalina kulya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. (Lub. 1:26, 28; 2:16, 17) Ebintu ebyo ebisatu bye byali byetaagisa ekigendererwa kya Katonda eri abantu n’ensi okusobola okutuukirira mu bujjuvu. Kati olwo kyajja kitya okuba nti kyali kyetaagisa okukola endagaano?
5, 6. (a) Sitaani yagezaako atya okuziyiza ekigendererwa kya Katonda? (b) Kiki Yakuwa kye yakola nga Sitaani atandiseewo obujeemu mu Adeni?
5 Ng’agezaako okuziyiza ekigendererwa kya Katonda, Sitaani Omulyolyomi yatandikawo obujeemu. Kino yakikola ng’asendasenda Kaawa okujeemera ekiragiro kya Katonda eky’obutalya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi. (Lub. 3:1-5; Kub. 12:9) Mu kukola ekyo, Sitaani yawakanya eky’okuba nti Katonda y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Ate oluvannyuma, Sitaani yagamba nti abantu baweereza Katonda si lwa kuba nti bamwagala wabula lwa kuba balina bye beenoonyeza.—Yob. 1:9-11; 2:4, 5.
6 Kiki Yakuwa kye yakola oluvannyuma lwa Sitaani okutandikawo obujeemu mu Adeni? Kyo kituufu nti okuzikiriza bakyewaggula kyali kisobola okumalawo obujeemu obwo, naye ekigendererwa kya Katonda eky’ensi okujjula abaana n’abazzukulu ba Adamu ne Kaawa tekyandituukiridde. Mu kifo ky’okuzikiririzaawo abajeemu abo, Omutonzi waffe ow’amagezi yayogera obunnabbi obukulu ennyo, nga kino kye kisuubizo ekyaweebwa mu Adeni. Ekisuubizo ekyo kyalaga nti ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu kyali kya kutuukirira.—Soma Olubereberye 3:15.
7. Okusinziira ku kisuubizo ekyaweebwa mu Adeni, kiki ekinaatuuka ku musota n’ezzadde lyagwo?
7 Okusinziira mu kisuubizo ekyaweebwa mu Adeni, Yakuwa yasalira omusota omusango awamu n’ezzadde lyagwo, nga bino bikiikirira Sitaani Omulyolyomi awamu n’abo abali ku ludda lwe abawakanya obufuzi bwa Katonda. Katonda ow’amazima yawa ezzadde ly’omukazi obuyinza okuzikiriza Sitaani. N’olwekyo, ekisuubizo ekyaweebwa mu Adeni kyalaga nti Sitaani n’ebintu ebibi byonna ebyajjawo olw’obujeemu bwe yatandikawo byali bya kuggibwawo, era kyalaga n’engeri gye byandiggiddwawo.
8. Kiki kye tumanyi ku mukazi awamu n’ezzadde lye?
8 Ezzadde ly’omukazi y’ani? Okuva bwe kiri nti ezzadde ly’omukazi lya kubetenta omutwe gw’omusota, kwe kugamba, lya ‘kuzikiriza’ ekitonde eky’omwoyo Sitaani Omulyolyomi, ezzadde ly’omukazi liteekwa okuba nga nalyo kitonde kya mwoyo. (Beb. 2: 14) Ate era omukazi azaala ezzadde eryo naye ateekwa okuba nga wa mwoyo. Wadde ng’ezzadde ly’omusota lyagenda lyeyongera obungi, waayita emyaka nga 4,000 oluvannyuma lwa Yakuwa okuwa ekisuubizo mu Adeni, ng’omukazi awamu n’ezzadde lye tebinnamanyika. Mu myaka egyo, Yakuwa yakola endagaano ezitali zimu ezaayamba abantu okutegeera ezzadde ly’omukazi awamu n’engeri Katonda gy’anaamalawo ebizibu ebyaleetebwa obujeemu Sitaani bwe yatandikawo.
ENDAGAANO EYAMBA ABANTU OKUTEGEERA EZZADDE
9. Endagaano ya Ibulayimu y’eruwa, era yatandika ddi okukola?
9 Nga wayise emyaka nga 2,000 oluvannyuma lwa Sitaani okusalirwa omusango, Yakuwa yalagira Ibulayimu okuva mu Uli agende mu nsi y’e Kanani. (Bik. 7:2, 3) Yakuwa yamugamba nti: “Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n’ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n’oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby’omu nsi mwe biriweerwa omukisa.” (Lub. 12:1-3) Wano ebyawandiikibwa we bisookera okwogera ku ndagaano ya Ibulayimu, ng’eno ye ndagaano Yakuwa Katonda gye yakola ne Ibulayimu. Tetumanyidde ddala ddi Yakuwa lwe yakola endagaano eyo ne Ibulayimu. Kyokka kye tumanyi kiri nti endagaano eyo yatandika okukola mu 1943 E.E.T., Ibulayimu bwe yava mu Kalani n’asomoka omugga Fulaati. Mu kiseera ekyo yalina emyaka 75.
10. (a) Ibulayimu yayoleka atya okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Katonda? (b) Bintu ki ebikwata ku zzadde ly’omukazi Yakuwa bye yagenda amanyisa?
10 Enfunda n’enfunda, Yakuwa yayogera ku kisuubizo kye yawa Ibulayimu, era nga ku buli mulundi abaako ebintu ebirala by’amanyisa. (Lub. 13:15-17; 17:1-8, 16) Ibulayimu yalina okukkiriza kwa maanyi mu bisuubizo bya Katonda, ne kiba nti yali mwetegefu okuwaayo omwana we omu yekka. Bwe kityo, Yakuwa yanyweza endagaano wakati we ne Ibulayimu ng’amukakasa nti ekyo kye yali amusuubizza yali wa kukituukiriza. (Soma Olubereberye 22:15-18; Abebbulaniya 11:17, 18.) Endagaano ya Ibulayimu bwe yatandika okukola, Yakuwa yagenda yeeyongera okumanyisa ebintu ebikulu ebikwata ku zzadde ly’omukazi. Ezzadde eryo lyali lya kuyitira mu lunyiriri lwa Ibulayimu, lyandibaddemu abantu bangi, abandiribaddemu bandibadde bakabaka, lyali lijja kuzikiriza abalabe bonna, era okuyitira mu zzadde eryo abantu bangi bandiweereddwa omukisa.
11, 12. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti endagaano ya Ibulayimu ya kutuukirizibwa ne ku kigero ekisingawo, era ekyo kitukwatako kitya?
11 Wadde ng’ebyo ebiri mu ndagaano ya Ibulayimu byasooka kutuukirira nga bazzukulu ba Ibulayimu basikidde Ensi Ensuubize, Ebyawandiikibwa biraga nti endagaano eyo yali ya kutuukirizibwa ne ku kigero ekisingawo. (Bag. 4:22-25) Omutume Pawulo yalaga nti ezzadde lya Ibulayimu ekkulu ye Kristo, era nti abalala abali mu zzadde eryo be Bakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000. (Bag. 3:16, 29; Kub. 5:9, 10; 14:1, 4) Omukazi azaala ezzadde eryo ye “Yerusaalemi ekya waggulu,” nga kino kye kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa, omuli ebitonde bye eby’omwoyo ebyesigwa. (Bag. 4:26, 31) Okusinziira ku ndagaano ya Ibulayimu, ezzadde ly’omukazi lijja kuleetera abantu emikisa.
12 Endagaano ya Ibulayimu yakakasa nti Obwakabaka obw’omu ggulu bwali bwa kuteekebwawo era nti Kabaka n’abo b’anaafuga nabo ba kusikira Obwakabaka obwo. (Beb. 6:13-18) Endagaano eyo eneekoma ddi? Mu Olubereberye 17:7 (NW) endagaano eyo eyitibwa ‘endagaano ey’olubeerera.’ Endagaano eyo ya kubeerawo okutuusa ng’Obwakabaka bwa Masiya bumaze okuzikiriza abalabe ba Katonda era ng’abantu bonna abatuukirivu bamaze okuweebwa emikisa. (1 Kol. 15:23-26) Mu butuufu, abantu bonna abanaabeera ku nsi mu kiseera ekyo bajja kufuna emikisa egy’olubeerera. Endagaano Katonda gye yakola ne Ibulayimu eraga nti Yakuwa amaliridde okutuukiriza ekigendererwa kye ‘eky’okujjuza ensi’ abantu abatuukirivu.—Lub. 1:28.
ENDAGAANO EKAKASA NTI OBWAKABAKA BUJJA KUBA BUNYWEVU EMIREMBE GYONNA
13, 14. Endagaano ya Dawudi etukakasa ki ku bufuzi bwa Masiya?
13 Ekisuubizo ekyaweebwa mu Adeni n’endagaano ya Ibulayimu biraga nti obufuzi bwa Yakuwa bwesigamiziddwa ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Bwe kityo n’Obwakabaka bwa Masiya, Katonda bwe yateekawo, nabwo bwesigamiziddwa ku mitindo gye egy’obutuukirivu. (Zab. 89:14) Kyandiba nti ekiseera kinaatuuka obufuzi bwa Masiya ne bwonooneka ne kiba nga kyetaagisa okubuggyawo? Waliwo endagaano endala eyakolebwa eraga nti ekyo tekisobola kubaawo.
14 Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yasuubiza Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda okuyitira mu ndagaano ya Dawudi. (Soma 2 Samwiri 7:12, 16.) Yakuwa yakola endagaano eyo ne Dawudi mu kiseera Dawudi bwe yali afuga nga kabaka mu Yerusaalemi, n’amusuubiza nti Masiya yali wa kuyitira mu lunyiriri lwe. (Luk. 1:30-33) Bwe kityo, Yakuwa yeeyongera okumanyisa ebikwata ku lunyiriri Masiya mwe yandiyitidde. Yakiraga nti omu ku bazzukulu ba Dawudi ye yandibadde ‘n’obwanannyini’ ku ntebe y’Obwakabaka bwa Masiya. (Ez. 21:25-27) Obwakabaka bwa Dawudi bujja ‘kuba bunywevu ennaku zonna,’ kubanga Yesu, muzzukulu wa Dawudi, ‘ajja kubeerawo emirembe gyonna, n’entebe ye ey’obwakabaka ejja kuwangaala ng’enjuba.’ (Zab. 89:34-37) Mu butuufu, obufuzi bwa Masiya tebujja kwonooneka, era ebintu bye bunaakola bijja kuba bya lubeerera!
ENDAGAANO YA KABONA
15-17. Okusinziira ku ndagaano ya kabona alinga Merukizeddeeki, mulimu ki omulala ezzadde gwe linaakola, era lwaki?
15 Endagaano ya Ibulayimu n’eya Dawudi ziraga nti ezzadde ly’omukazi lyali lya kufuga nga kabaka. Kyokka, eky’okuba nti ezzadde eryo lyandifuze nga kabaka ku bwakyo tekyandisobodde kuganyula bantu mu bujjuvu. Abantu okusobola okuganyulwa mu bujjuvu, bandibadde beetaaga okununulibwa okuva mu kibi era ne beegatta ku maka ga Yakuwa. Ekyo okusobola okubaawo, ezzadde eryo era kyandiryetaagisizza okuweereza nga kabona. Ezzadde eryo okusobola okuweereza nga kabona, Omutonzi waffe ow’amagezi yakola endagaano endala, ng’eno ye ndagaano ya kabona alinga Merukizeddeeki.
16 Ng’ayitira mu Kabaka Dawudi, Yakuwa yakiraga nti yali ajja kukola endagaano ne Yesu ng’erina ebigendererwa bibiri: (1) okusobozesa Yesu ‘okutuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo’ okutuusa ng’amaze okuwangula abalabe be ne (2) okusobozesa Yesu okuba “kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.” (Soma Zabbuli 110:1, 2, 4.) Lwaki Yesu yandibadde nga Merukizeddeeki? Merukizeddeeki, kabaka w’e Salemi, yali “kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo” ng’ekyabulayo emyaka mingi ddala bazzukulu ba Ibulayimu basikire Ensi Ensuubize. (Beb. 7:1-3) Yakuwa kennyini ye yamulonda okuba kabaka era kabona. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, Merukizeddeeki ye muntu yekka ayogerwako ng’eyali kabaka ate nga mu kiseera kye kimu kabona. Ate era okuva bwe kiri nti Merukizeddeeki bwe yali tannabaawo era n’oluvannyuma lw’okuvaawo tewali muntu yenna yali kabaka ate nga mu kiseera kye kimu kabona, Merukizeddeeki ayitibwa “kabona emirembe n’emirembe.”
17 Okuyitira mu ndagaano eyo, Yakuwa yalonda Yesu okuba kabona, era Yesu ajja kusigala ng’aweereza nga “kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.” (Beb. 5:4-6) Ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwa Masiya okutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu n’ensi.
OBWAKABAKA BWESIGAMIZIDDWA KU NDAGAANO
18, 19. (a) Endagaano ze twetegereza zituyigiriza ki ku Bwakabaka? (b) Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
18 Okwetegereza endagaano ezoogeddwako mu kitundu kino kituyambye okulaba engeri gye zikwata ku Bwakabaka bwa Masiya era n’okukiraba nti Obwakabaka obwo bwesigamiziddwa ku ndagaano. Ekisuubizo ekyaweebwa mu Adeni kikakasa nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi n’abantu ng’ayitira mu zzadde ly’omukazi. Endagaano ya Ibulayimu etuyamba okutegeera ezzadde eryo n’obuvunaanyizibwa bwe lyandibadde nabwo.
19 Endagaano ya Dawudi etuyamba okumanya ebisingawo ebikwata ku lunyiriri Masiya mwe yandiyitidde era ewa Yesu obuyinza okufuga ensi, ekintu ekijja okuviiramu abantu emikisa egy’olubeerera. Endagaano ya kabona alinga Merukizeddeeki ekakasa nti ezzadde ly’omukazi lijja kuweereza nga kabona. Kyokka Yesu bw’anaaba ayamba abantu okufuuka abatuukiridde, tajja kuba yekka. Waliwo n’abalala abaalondebwa okuba bakabaka era bakabona. Abantu abo bava wa? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.