Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Kisoboka okufuna obulamu obutaggwaawo?

Adamu, omuntu eyasooka okutondebwa yawangaala emyaka egisukka mu 900, naye era yamala n’afa. Okuva mu kiseera ekyo, abantu bakoze kyonna ekisoboka okulaba nti tebafa, naye balemereddwa. Lwaki? Adamu yakaddiwa era n’afa olw’okuba yajeemera Katonda. Ffe tukaddiwa era ne tufa kubanga twasikira ekibi kya Adamu.​—Soma Olubereberye 5:5; Abaruumi 5:12.

Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, twetaaga ekinunulo. (Yobu 33:24, 25) Ekinunulo gwe muwendo oguweebwayo okununula omuntu. Twetaaga okununulibwa okuva mu kibi n’okufa. (Okuva 21:29, 30) Yesu yatununula bwe yatufiirira.​—Soma Yokaana 3:16.

Kiki kye tusaanidde okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?

Si buli muntu nti ajja kununulibwa okuva mu kibi n’okufa. Mu butuufu, abantu abajeemera Katonda nga Adamu bwe yakola tebajja kufuna obulamu obutaggwaawo. Abo bokka abanaasonyiyibwa ebibi byabwe be bajja okufuna obulamu obwo.​—Soma Isaaya 33:24; 35:3-6.

Okusobola okusonyiyibwa, waliwo kye tulina okukola. Tulina okumanya Katonda nga tusoma Ekigambo kye, Bayibuli. Bayibuli etuyigiriza engeri gye tuyinza okuba mu bulamu obulungi n’engeri gye tusobola okukolamu ebisanyusa Katonda tusobole okufuna obulamu obutaggwawo.​—Soma Yokaana 17:3; Ebikolwa 3:19.