Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU: DDALA ERIYO EDDIINI EYEESIGIKA?

Lwaki Kikulu Okwekenneenya Amadiini?

Lwaki Kikulu Okwekenneenya Amadiini?

Ka tugambe nti olina obulwadde obw’omutawaana era ogenda kulongoosebwa. Tekiba kya magezi kukakasa obanga omusawo agenda okukukolako alina obumanyirivu, okuva bwe kiri nti obulamu bwo bujja kuba mu mikono gye?

Mu ngeri y’emu, kiba kya magezi okwekenneenya amadiini. Bw’oba olina eddiini gy’olimu, oba ng’awaddeyo obulamu bwo eri eddiini eyo. Eyinza okukusobozesa okufuna obulamu obutaggwawo oba okubufiirwa.

Yesu yatubuulira ekisobola okutuyamba okwekenneenya amadiini. Yagamba nti: “Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo.” (Lukka 6:44) Ng’ekyokulabirako, bwe weekenneenya eddiini, bibala bya ngeri ki by’erina? Abakulembeze baayo bassa nnyo essira ku ssente? Bwe kituuka ku ntalo n’empisa, abagoberezi baayo bakolera ku ebyo Bayibuli by’egamba? N’ekisembayo, ddala eriyo eddiini gy’osobola okwesiga? Osabibwa okwetegereza ebitundu ebiddirira.

“Buli muti gumanyirwa ku bibala byagwo.”​—Lukka 6:44