OMUNAALA GW'OMUKUUMI Febwali 2015 | Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo

Abantu bangi banyumirwa emirimu gye bakola. Biki ebibayambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola emirimu egy’okukakaalukana?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Onyumirwa Okukola Emirimu egy’Okukakaalukana?

Abantu abamu kibaswaza okukola emirimu egitwalibwa ng’egya wansi. Kyokka abantu abalala bangi banyumirwa okukola emirimu ng’egyo. Biki ebibayamba okunyumirwa emirimu gyabwe?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Ebinaakuyamba Okunyumirwa Omulimu Gwo

Soma omanye agamu ku magezi agali mu Bayibuli agayinza okukuyamba okunyumirwa omulimu gwo.

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Lwaki Tusaanidde Okusoma Bayibuli?

Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, amagezi agalimu gasobola okutuyamba leero. Amagezi ago gasobola gatya okukuyamba mu mbeera ez’enjawulo?

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU

Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Byange mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi

Ernest Loedi yafuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu bye yali yeebuuza. Eby’okuddamu bye yafuna mu Bayibuli bimuyambye okuba n’essuubi ekkakafu erikwata ku biseera eby’omu maaso.

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE

“Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”

Kiki ekyasobozesa Yusufu okunnyonnyola ebirooto by’omusenero, omufumbiro, n’ebya Falaawo? Yusufu eyali omusibe, yatuuka atya okufuuka omukungu wa kabaka mu lunaku lumu lwokka?

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Teeberezaamu emirembe n’obutebenkevu ebyandibaddewo singa ensi yonna efugibwa gavumenti emu. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kussaawo gavumenti eyo? Ani asobola okufuga obulungi ensi yonna?

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Ddala Bayibuli Kitabo Ekirimu Amagezi g’Abantu?

Weetegereze ekyo Bayibuli kye yeeyogerako.