OMUNAALA GW'OMUKUUMI Maayi 2015 | Enkomerero Eri Kumpi?
Bw’owulira ebigambo “Enkomerero eri kumpi!” kiki ekikujjira mu birowoozo? Kikuleetera okweraliikirira?
OMUTWE OGULI KUNGULU
“Enkomerero” —Kye Ki?
Obadde okimanyi nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku ‘nkomerero’ mawulire malungi?
OMUTWE OGULI KUNGULU
Enkomerero Eri Kumpi?
Ebintu bina ebiri mu kabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero akoogerwako mu Bayibuli bituyamba okufuna eky’okuddamu.
OMUTWE OGULI KUNGULU
Bangi Bajja Kuwonawo —Naawe Osobola
Mu ngeri ki? Kikwetaagisa kutereka bintu binaakuyamba ng’enkomerero ezze?
Obadde Okimanyi?
Ebintu eby’edda ebizze bizuulibwa bikakasa nti Bayibuli ntuufu? Empologoma zaakoma ddi okubeera mu bitundu ebyogerwako mu Bayibuli?
BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU
Nnayiga nti Yakuwa Musaasizi era Asonyiwa
Normand Pelletier, okufera abantu kwali kumufuukidde muze. Naye yakulukusa amaziga bwe yasoma olunyiriri lumu okuva mu Bayibuli.
KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE
“Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
Amaka gammwe galimu obuggya, enkwe, n’obukyayi? Bwe kiba bwe kityo, ebyo Bayibuli by’eyogera ku Yusufu bisobola okukuyamba.
Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Lwaki Olunaku olw’Okusalirako Omusango lujja kumala emyaka 1,000?
Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa
Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
Laba ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola nga butandise okufuga ensi.