Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Nnali Ntya Nnyo Okufa

Nnali Ntya Nnyo Okufa
  • NNAZAALIBWA: 1964

  • ENSI: BUNGEREZA

  • EBYAFAAYO: NNAYONOONEKA NGA KYALI MUTO

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

Nnazaalibwa mu kitundu ekiyitibwa Paddington ekiri mu kibuga London mu Bungereza. Nnabeeranga ne maama wange ne bakulu bange basatu. Taata yalina ekizibu ky’okunywa ennyo omwenge, era ebiseera ebisinga teyabeeranga waka.

Bwe nnali nkyali muto, maama yanjigiriza okusabanga buli kiro. Nnalina ka Bayibuli akatono nga kalimu kitabo kya zzabuli kyokka, era nnayiiya amaloboozi ne nnyimbanga zzabuli ezo. Nzijukira waliwo ekitabo kye nnasomamu ebigambo ebigamba nti: “Olunaku lujja kukya byonna bikome.” Ebigambo ebyo byandeetera okubulwa otulo nga ndowooza ku biseera eby’omu maaso. Nneebuuzanga nti: ‘Obulamu bulina kigendererwa ki?’ Nnali ntya nnyo okufa.

Ekyo kyandeetera okwagala ennyo okumanya ebikwata ku bafu. Nze ne mikwano gyange twateranga okugenda ku malaalo era twalabanga nnyo firimu ezitiisa.

Nnatandika okwonooneka nga ndi wa myaka kkumi gyokka. Nnatandika okunywa sigala, era oluvannyuma lw’ekiseera kitono ne ntandika n’okunywa enjaga. Ku myaka 11 nnatandika okunywa omwenge. Wadde nga gwali tegumpoomera, nnagunywanga olw’okwagala okutamiira. Ate era nnali njagala nnyo ennyimba n’okuzina. Nnebbanga awaka ekiro ne ŋŋenda mu disiko ne nkomawo nga bukya. Olw’okuba nnabanga nkooye, oluusi saagendanga ku ssomero enkeera. Bwe nnabanga ŋŋenze ku ssomero, nnafulumanga mu kibiina ne nnywa ku mwenge.

Ebigezo by’omwaka ogwasembayo nnabikola bubi nnyo. Maama yali tamanyi ngeri gye nnali nneeyisaamu, era yanyiiga nnyo okulaba nga ngudde ebigezo. Twayomba era ne nva awaka ne ntandika okubeera ne muganzi wange Tony eyali Omulaasi. Tony yalina omuze gw’obubbi, ng’atunda ebiragalalagala, era ng’amanyiddwa ng’omuntu ow’effujjo. Mu kiseera kitono nnafuna olubuto ne nzaala omwana omulenzi nga nnina emyaka 16 gyokka.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

Nnasooka okulaba Abajulirwa ba Yakuwa nga mbeera mu kifo abakazi abalina abaana abato, naye nga si bafumbo, we baabeeranga. Ab’obuyinza be baali bampa aw’okubeera mu kifo ekyo. Abakyala babiri Abajulirwa ba Yakuwa baateranga okujja okuyigiriza abamu ku bakazi abaali mu kifo ekyo. Lumu bwe baali bazze okubaako be bayigiriza Bayibuli, nange nnabeegattako. Nnababuuza ebibuuzo bingi nga njagala okubalaga nti bye bayigiriza si bituufu. Naye ebibuuzo byange byonna baabiddamu mu bukkakkamu nga bakozesa Bayibuli. Baali ba kisa nnyo, era ekyo kyansikiriza nange ne ntandika okuyiga Bayibuli.

Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali baakatandika okunjigiriza Bayibuli, nnayiga ekintu ekyakyusa obulamu bwange. Okuviira ddala nga nkyali muto nnali ntya nnyo okufa. Naye bwe nnayiga nti wajja kubaawo okuzuukira, okutya okwo kwanzigwamu. (Yokaana 5:28, 29) Ate era nnakitegeera nti Katonda anfaako. (1 Peetero 5:7) Ebigambo ebiri mu Yeremiya 29:11 nabyo byankwatako nnyo. Bigamba nti: “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.’” Nnafuna essuubi ery’okubeera mu nsi empya emirembe gyonna.Zabbuli 37:29.

Abajulirwa ba Yakuwa bandaga okwagala okwa nnamaddala. Olukuŋŋaana lwabwe lwe nnasooka okugendamu lwannyumira nnyo, kubanga buli omu yanfaako nnyo. (Yokaana 13:34, 35) Ekyo kyali kya njawulo nnyo ku kye nnalaba nga ŋŋenze mu kkanisa ey’omu kitundu gye nnabeeranga. Wadde ng’embeera gye nnalimu teyali nnungi, Abajulirwa ba Yakuwa bansembeza era bannyamba nnyo. Nnawulira nga nfunye baganda bange.

Bye nnali njiga mu Bayibuli byandaga nti nnali nnina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okusanyusa Katonda. Tekyannyanguyira kulekera awo kunywa sigala. Ate era nnakiraba nti nnalina okulekera awo okuwuliriza ennyimba ezimu kubanga zandeeteranga okwagala okuddamu okunywa enjaga. Okusobola okwewala okunywa omwenge, nnalekera awo okugenda ku bubaga ne mu disiko, kubanga bwe nnagendangayo nnanywanga ne ntamiira. Ate era nnafuna emikwano emirala egyali gisobola okunnyamba okukola ebintu ebisanyusa Katonda.Engero 13:20.

Mu kiseera ekyo ne Tony yali atandise okuyiga Bayibuli. Abajulirwa ba Yakuwa baddamu ebibuuzo bye nga bakozesa Bayibuli, era ekyo kyamulaga nti yali azudde eddiini ey’amazima. Yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Yalekera awo okukolagana n’abantu ab’empisa embi abaali mikwano gye, era yalekera awo okubba n’okunywa enjaga. Mu 1982 nze ne Tony twasalawo okufumbiriganwa mu mateeka, tusobole okukuza obulungi omwana waffe.

“Sikyabulwa tulo olw’okweraliikirira eby’omu maaso era sikyatya kufa”

Nnasomanga nnyo magazini ya Watchtower ne Awake! * nnaddala ebitundu ebikwata ku bantu Bayibuli be yayamba okulekayo emize emibi. Bye nnasomanga byannyamba okumalirira okulekayo emize emibi gye nnalina era nnasabanga nnyo Yakuwa annyambe. Mu Jjulaayi 1982, nze ne Tony twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

Ndowooza singa saayiga Bayibuli ne nfuna enkolagana ennungi ne Katonda, nnandibadde nnafa dda. Nze n’omwami wange tukiraba nti Yakuwa atuyambye nnyo mu biseera ebizibu. Tumwesiga, era naye tatulekeredde.Zabbuli 55:22.

Twafuba okuyigiriza abaana baffe ebikwata ku Yakuwa, era kinsanyusa okulaba nti nabo bayambye abaana okumanya Yakuwa.

Sikyabulwa tulo olw’okweraliikirira eby’omu maaso era sikyatya kufa. Nze n’omwami wange tulina enkizo ey’okukyalira ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebitali bimu buli wiiki okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Tukolera wamu nabo okuyigiriza abantu Bayibuli bakkiririze mu Yesu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo.

^ lup. 17 Zikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.