Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BAYIBULI KY’EGAMBA

Omusaalaba

Omusaalaba

Abantu bangi Omusaalaba bagutwala ng’akabonero ak’Ekikristaayo. Kyokka abamu tebakkiriza nti omusaalaba gulina okwambalwa oba okutimbibwa mu mayumba oba mu masinzizo.

Ddala Yesu yafiira ku musaalaba?

ABANTU ABAMU KYE BAGAMBA

 

Abaruumi bwe baali batta Yesu, baamuwanika ku musaalaba, kwe kugamba, emiti ebiri ng’ogumu gukiikiddwa mu gunnaagwo.

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Yesu bwe yali attibwa, ‘baamuwanika ku muti.’ (Ebikolwa 5:30, Bayibuli y’Oluganda eya 1968) Ebigambo byonna ebibiri abawandiisi ba Bayibuli bye baakozesa nga boogera ku kintu Yesu kwe yawanikibwa bitegeeza muti gumu, so si ebiri. Okusinziira ku kitabo Crucifixion in Antiquity, ekigambo ky’Oluyonaani stau·rosʹ kitegeeza “ekikondo, era tekirina we kikwataganira na musaalaba.” Ekigambo xyʹlon ekyakozesebwa mu Ebikolwa By’Abatume 5:30 kitegeeza “ekikondo oba omuti Abaruumi kwe baakomereranga abantu.” *

Bayibuli era eraga nti waliwo akakwate wakati w’engeri Yesu gye yattibwamu n’Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri. Amateeka gaali gagamba nti: “Omuntu bw’anaakolanga ekibi ekimugwanyiza okuttibwa, n’attibwa, era n’omuwanika ku muti, . . . oyo awanikibwa aba akolimiddwa Katonda.” (Ekyamateeka 21:22, 23) Ng’ayogera ku mateeka ago, omutume Pawulo yagamba nti Yesu yafuuka “ekikolimo mu kifo kyaffe, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Akolimiddwa buli awanikibwa ku muti [xyʹlon].’” (Abaggalatiya 3:13) N’olwekyo, Pawulo yakiraga nti Yesu yafiira ku muti, kwe kugamba, ku kikondo, so si ku musaalaba.

‘Baamutta nga bamuwanika ku muti.’Ebikolwa 10:39, Bayibuli y’Oluganda eya 1968.

Abayigirizwa ba Yesu baakozesanga Omusaalaba mu kusinza oba ng’akabonero ak’Ekikristaayo?

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Tewali wonna Bayibuli w’eragira nti Abakristaayo abaasooka baakozesa omusaalaba ng’akabonero akakiikirira Obukristaayo. Mu kifo ky’ekyo, Abaruumi abaaliwo mu kiseera ekyo be baakozesanga omusaalaba ng’akabonero akakiikirira bakatonda baabwe. Bwe waali wayise emyaka nga 300 oluvannyuma lwa Yesu okuttibwa, Empula wa Rooma Constantine yatandika okukozesa omusaalaba ng’akabonero k’eggye lye, era oluvannyuma akabonero ako kaatandika okukozesebwa abo abaali beeyita Abakristaayo.

Okuva bwe kiri nti abakaafiiri baakozesanga omusalaba mu kusinza bakatonda baabwe ab’obulimba, ddala kisoboka okuba nti abayigirizwa ba Yesu nabo baagukozesanga mu kusinza Katonda ow’amazima? Abayigirizwa ba Yesu baali bakimanyi bulungi nti, Katonda yali yagaana abaweereza be okumusinza nga bakozesa ‘ekifaananyi ky’ekintu kyonna’ era baali bakimanyi nti Abakristaayo baalina ‘okudduka okusinza ebifaananyi.’ (Ekyamateeka 4:15-19; 1 Abakkolinso 10:14) “Katonda Mwoyo,” era tewali muntu asobola kumulaba. N’olwekyo Abakristaayo tebaakozesanga bifaananyi oba bibumbe kubayamba kufuna nkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Mu kifo ky’ekyo, baasinzanga Katonda “mu mwoyo n’amazima,” nga bakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu awamu n’obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda.—Yokaana 4:24.

‘Abasinza mu ngeri entuufu banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima.’Yokaana 4:23.

Abakristaayo balaga batya nti bawa Yesu ekitiibwa?

ABANTU KYE BAGAMBA

 

“Abantu basaanidde okussa ekitiibwa mu kintu Omulokozi waffe kwe yattirwa. . . . Oyo atassa kitiibwa mu kifaananyi, aba tassa kitiibwa mu oyo gwe kiba kikiikirira.”—New Catholic Encyclopedia.

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Abakristaayo basaanidde okussa ekitiibwa mu Yesu kubanga okuyitira mu kufa kwe basobola okusonyiyibwa ebibi byabwe, okutuukirira Katonda mu kusaba, n’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16; Abebbulaniya 10:19-22) Bayibuli terina weeragira Bakristaayo kukola kifaananyi kya Yesu, era teraga nti omuntu okwatula obwatuzi nti akkiririza mu Yesu kye kiraga nti amussaamu ekitiibwa. Mu butuufu Bayibuli egamba nti, “okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.” (Yakobo 2:17) Abakristaayo basaanidde okukiraga nti bassa ekitiibwa mu Yesu. Mu ngeri ki?

Bayibuli egamba nti: “Okwagala kwa Kristo kutusindiikiriza, kubanga tutegedde nti omuntu omu yafiirira bonna . . . abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiirira era n’azuukira.” (2 Abakkolinso 5:14, 15) Abakristaayo balaga nti basiima Yesu olw’okwagala okungi kwe yabalaga nga bafuba okukoppa ekyokulabirako kye. Eyo ye ngeri esingayo obulungi gye balagamu nti bassa ekitiibwa mu Yesu.

“Kitange ayagala buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo.”Yokaana 6:40.

^ lup. 8 Ekitabo A Critical Lexicon and Concordance to the English and Greek New Testament, Omuzingo 11, ekyawandiikibwa Ethelbert W. Bullinger, olupapula 818-819.