BAYIBULI KY’EGAMBA
Okukwata Obudde
N’abantu abamu abatera okutuuka ekikeerezi bakimanyi nti kirungi okukwata obudde. Bayibuli etuwa amagezi amalungi ku nsonga eyo.
Lwaki kikulu okukwata obudde?
LWAKI KIKULU?
Abantu abamu bakirabye nti okutuuka nga bukyali kikendeeza ku kweraliikirira. Era omuntu akwata obudde yeekolera erinnya eddungi. Mu ngeri ki?
Kiraga nti alina enteekateeka ennungi. Omuntu omukwasi w’obudde aba akiraga nti alina enteekateeka ennungi kw’atambulira emusobozesa okukola ebintu by’aba alina okukola mu budde.
Kiraga nti yeesigika. Mu nsi ya leero ejjudde abantu abatatuukiriza ebyo bye basuubiza, kisanyusa nnyo okulaba ng’omuntu atuukiriza ebyo by’aba asuubizza. Omuntu akwata obudde assibwamu ekitiibwa. Bakama be baba bamutwala nga wa muwendo. Omukozi ng’oyo eyeesigika asobola n’okwongezebwa omusaala.
EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Waliwo ebyawandiikibwa ebitali bimu mu Bayibuli ebyogera ku kukwata obudde. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Ebintu byonna bikolebwe mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.” (1 Abakkolinso 14:40) Abantu ababiri bwe balagaana okusisinkana mu kifo ekimu, kiba kirungi bombi okutuukayo mu budde. Bayibuli egamba nti: “Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kiba n’ekiseera kyakyo.” (Omubuulizi 3:1) Olunyiriri oluddako lugamba nti waliwo “ekiseera eky’okusimba n’ekiseera eky’okusiguukulula.” (Omubuulizi 3:2) Abalimi bafuba okusimba ebirime mu kiseera ekituufu basobole okufuna amakungula amalungi. Ekyo kiraga nti kikulu nnyo okukwata obudde.
Bayibuli eraga ensonga endala enkulu lwaki twandifubye okukwata obudde. Bwe tukwata obudde kiraga nti tussa ekitiibwa mu balala n’ebiseera byabwe. (Abafiripi 2:3, 4) Mu butuufu, abantu abatera okutuuka ekikeerezi batera okuleetera abalala okubalindanga, era kiyinza okugambibwa nti babba ebiseera by’abalala.
‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’—Abafiripi 2:4.
Kiki ky’osobola okukola okukwata obudde?
EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Bayibuli etukubiriza okukola enteekateeka nga bukyali. (Engero 21:5) Bwe kiba nti otera obutakwata budde, kiyinzika okuba nti otera okwagala okukola ebintu bingi mu budde butono. Lwaki mu nteekateeka zo toggyamu bintu ebitali bikulu nnyo? Bwe muba mwalagaanye okusisinkana mu kifo ekimu, weewe obudde obumala osobole okutuukayo nga bukyali. Bwe weewa obudde obumala, ne bw’osanga akalippagano k’ebidduka, osobola okutuuka mu budde.
Bayibuli era etukubiriza okuba abeetoowaze. (Engero 11:2) Omuntu omwetoowaze amanya obusobozi bwe we bukoma. N’olwekyo, nga tonnalagaana na muntu, sooka opimeepimemu mu bwesimbu olabe obanga ddala onoosobola okutuukiriza ekyo ky’aba akugambye mu budde bw’aba akusabye. Bw’okkiriza okukola ebintu by’otosobola kutuukiriza mu budde, kikumalako emirembe, era n’abalala kibamalako emirembe.
Bayibuli era etukubiriza okukozesa obulungi ebiseera byaffe. (Abeefeso 5:15, 16) Sooka okole ku bintu ebisinga obukulu. (Abafiripi 1:10) Ng’ekyokulabirako, bw’oba oli mu takisi oba ng’olina b’olinda, kozesa akakisa ako okubaako by’osoma oba okukola enteekateeka ey’olunaku.
“Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.”—Engero 21:5.